Islamic

Tewali alina kusubwa kugenda mu Hijja nga yasasula, gavumenti esitukiremu- MP Nkunyingi

.

19/06/2023

Minister ow’ekisiikirize ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga era nga ye mubaka owa Kyadondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Muwada Nkunyingi ayagala gavumenti yaakuno mu bwangu ebeeko kyekola okuyamba abamu ku bayisiraamu abakyasobeddwa ewaka ne mukibira oluvanyuma lw’ okulemererwa okufuna Visa ezibakkiriza okugenda mu ggwanga erya Saudi Arabia e’Makkah okukola Hijja nga bano babadde balina okusimbula olunaku olwaleero wabula nga baalekeddwa banaabwe abagenze.

Buli mwaka abayisiramu abalina obusobozi boolekela e’Makkah okukola Hijja nga akamu kukabonero ok’okutuukiriza emu ku mpagi ettano ezobuyisiraamu,wabula bano babadde baasasula dda ticket zabwe nga bamanyi werunatuukira olunaku olwaleero nga bamaze okufuna Visa ekitaasobose.

Mu lukungaana lwa bamawulire lwatuuziza ku palamenti olwa leero, Hon Muwadda agamba gavumenti ng’eyita mu minisita waayo ow’ebyentambula General Edward Katumba Wamala wamu ne minisitule y’ensonga ze bweru okuvaayo netegeeza nti bannayuganda bonna abagenda okulamaga ebasiibudde okugenda kyabulimba kuba bangi bakyakonkomalidde ku kisaawe ne yafeesi za Hijja olwobutafuna Visa.

Omubaka Muwada mu ngeri yeemu agamba gavumenti mbagirawo eteekewo enjogerezeganya ne ggwanga erya Saudi Arabia bakole ku nsonga y’okuwa abalamazi visa zaabwe nokulaba nga abanaaba bakeereye bongerwayo akadde.

Bya Namagembe Joweria.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *