Tukwatire wamu twekulakulanye. Sheikh Elias Kigozi.
District kadhi wa district y’obusiramu eya wakiso Muslim district council Mawulana sheikh Elias Kigozi Nkangi asabye abasiramu mu ggwanga okukwatira awamu mubuli nsonga ekulakulanya obusiramu busobole okukulakulanira kumisinde egyisanidde.
Sheik Elias okwongera bino asinzidde mukklambula etwaale erya Kira okulaba emirimu egyikolebwayo nga n’swala eya Jumah ajikwatidde ku masjid Hidayah Kireka.
Sheik Kigozi asiimye abantu be abe wakiso olwokuwagira enteekateka z’obusiraamu mu district era naye neyeyama okusigala nga aweereza n’omutima gumu wamu n’okutuukiriza ebilubilirwa byeyasuubiza nga atandika obuweereza bwa kadhi omuli okkulakulanya ba imam,okuyambako abakyala okubaako byebasobola okujjamu ensimbi,okutumbula ebyenjigiriza n’ebyemizanyo,eby’obulamu nebilala.
Abasiramu ba Kira basiimye emirimu ejikolebwa district kadhi ono kubanga ettono lyeyakamala mu office eno nga awereza obusiramu
omuli okuzimbira ba imam amayumba,okkulakulanya abakyala,abavubuka neba imam nebamusaba obutaddirira.
Bino webijidde nga District kadhi akyagenda mumaaso n’okutalaaga amatwale agenjawulo agakola wakiso ne yafeesi zabakungu abejawulo okubasaba okuberawo kumukolo gw’okumutuuza mu butongole kuntebe y’obwa kadhi bwa wakiso nga 22-07-2023 era nga president Yoweri Kaguta Museveni yagenda okubeera omugenyi omukulu wamu n’okuggulawo eddwaliro lya Abu Hamza Health centre iv e’Kaliiti mu Busiiro era abasiramu okuva mutwaale lya Kira basonze obukadde 4 n’omusobyo okuyambako mukuteekateka omukolo guno.
E Jumah eno yetabiddwako ne ssentebe wa district y’obusiramu eya Wakiso Hajji Edirisa Ssesanga Kilyangenjovu,amyuka kadhi sheik Abdallah Kamulegeya nabalala.
Bya Tenywa Ismail