Islamic

250 baganyuddwa mu zakkah okuva mu kitongole ekya One Ummah Uganda.

Ekitongole Kya One Ummah Uganda ekikulirwa Hajjat Shania kigozi kiriko abantu abawerera ddala 250 bekigabidde Zakkah ey’ensimbi enkalu okubayambako okwongera amaanyi mu mirimu gyebakola. Omukolo ogwokugaba Zakah eno guyindidde ku kitebe ky’obusiramu ekya Uganda Muslim Supreme Council. Abantu abaganyuddwa mu Zakkah eno kuliko bannamwandu,abavubuka abalina obulimu obutonotono, abakadde,abawalimu,abaliko obulemu kumibiri gyabwe nabalala.

Hajjat Shania Kigozi ne tiimu

Omugenyi omukulu abadde Mufuti wa Uganda His Eminence Sheik Shaban Ramadhan Mubajje era mububaka bwe akubiriza abasiramu abalina obusobozi okutoola zakkah mu maali yabwe kubanga ekilubirirwa muyo kutukuza maali wamu n’okuyamba okukwasizaako abetaavu.

Mufti nga akwasa omusiramu zakkah

Mufti agambye nti ensangi zino abantu bagayaliridde nnyo okuwa zakkah ekintu eky’akabenje gyebali ne maali yabwe, bwatyo asabye abantu okwejjamu obugayavu buno bakole emirimu gya Allah. Mufuti mubajje asiimye nnyo emirimu egyikolebwa ekitongole Kya one ummah Uganda ne One Ummah UK nabasaba obutaddiriza mu mirimu gyebakolera obusiramu bwa Uganda.

Akulira One Ummah mu Uganda Hajjat Shania Kigozi asabye abawereddwa zakkah eno okujikozesa ebyo byebalaze mubbaluwa zebakozesa okusabaza wamu nokubayambako okukyuusa obulamu bwabwe n’obwa family zabwe. Hajjat Shania agambye nti Zakkah eno ewereddwayo mikwano gyabwe abasinzira e bungereza nabasaba okubasabira ennyo wamu n’ekitongole kya One Ummah omuyitidde obuyambi buno.

Abamu kubafunye Zakah

Yye district kadhi wa Wakiso Muslim district council Sheik Elias Kigozi Nkangi asabye abawereddwa zakkah eno okufuba okulaba bazikozesa okwebbulula n’okuyingiza mu family zabwe. Asabye abantu abalina obusobozi okutoola zakkah kubanga eyamba nnyo okukyusa obulamu bwabantu abawejjere.

Omukolo guno gwetabiddwako abebitibwa omuli omukulu wa Rabitwa mu Uganda sheik Abdul Obeid Kamulegeya ,akulira ebyenteekateka ku UMSC Sheik Musana Sulaiman Kawanguzi,akulira Dawa ku UMSC Sheik Murushid Luwemba, secretary wa social affairs ku UMSC Hajji Muhamad Aluma nabalala bangi.

Bya Tenywa Ismail Kabangala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *