Politics

Aba FDC kati bakubaganira mu palamenti.

Ensonga z’ekibiina kya Forum For Democratic Change (FDC) zongedde okulanda oluvanyuma lwabannakibiina kya kino okukulukuutira speaker wa Palamenti ekiwandiiko namutayika ngabemulugunya kukulonda kw’omubaka wa mawokota south Yusuf Nsibambi ku kifo kyobwa Nampala bw’ekibiina kyaabwe ngabagamba nti okulondebwakwe tekwayita mu mateeka.

Mukiwandiiko ekiwereddwa amyuuka Sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa nga kitereddwako emikono gyabantu mwenda nga bakulembeddwamu ababaka okuli Francis Mujukye owe Buhweju,Nyakato Ansanansi omubaka wa Hoima city,Kabuusu moses,Atkins Katusabe nabalala ng’era bagamba nti okulondebwa kwa Nsibambi tekwayise mu ssemateeka ng’era Ssabwandiisi w’ekibiina kyabwe Nathan Nandala Mafaabi kino yakikola nga omuntu.

Kati omubaka wa Buhweju County Francis Mujukye ng’era yamyuka omuwanika wa FDC agamba nti nga banakibiina tebalwanyisa Nsibambi wabula baagala alondebwe ngayise mu makubo amatuufu .

Yye omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda ng’era ono yeyasuuliddwa kukifo asekeredde abalwanira ekifo kye kyagamba nti tekiriimu yadde ensimbi ng’era ye abadde akikola lwa mukwano gwalina kukibiina kye ekya FDC.

Ate omubaka wa mawokota south Yusuf Nsibambi ngayeyalondeddwa kukifo kyobwa Nampala bwa FDC asekeredde banakibiina abatamwagariza ng’era agamba abo abalowooza nti teyalondebwa mu mateeka bali kubyabwe.

Mubuufu bwebumu era waliwo ekiwandiiko ekifulumiziddwa SIPIIKA WA Palamenti Anet Anitah Among okuyita kukibanja kye ekya Twiita (Twitter) ngalagira Ssaabawandisi wa FDC okumuwa obujurizi obulaga emitendera egyayitibwamu okukola enkyukakyuka mukifo kyobwa Nampala.

Bya Namagembe Joweria
..

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *