Politics

Aba NRM basazeewo

Akabondo k’ababaka ba NRM kasazeewo nti okutandika ne December w’omwaka guno kekagendanga okulondanga ba komisona ku lukiiko oluddukanya palamenti (Palamentary Commission) so si bano kulondebwa lukiiko olufuzi olw’ekibiina ki NRM olwa CEC nga bwegubadde.

Nampala wa gavumenti mu Densi Hamson Obua bino abibuulidde bannamawulire ku palamenti bwabadde abanjulira ebimu ku byatuukiddwako mu lusirika lwe babaddemu e Kyankwanzi olumaze ennaku 10 ngera okusinziira ku Obua enteekateeka eno eno yaakutandika mu December nga ekisanja kyaba komisona abaliko kiweddeko.

Mu birala ebyasaliddwawo mu lusirika luno ke kabondo okwongera okutunda enteekateeka ya gavumenti ey’okuggya abantu mu bwavu eya PDM,okuwagira enkola ya gavumenti ey’okwongera omutindo ku birime nga emmwanyi nebikajjo awamu nokwogera eddoboozi limu bwegutuuka ku biteeso bya gavumenti byeba ereese wamu n’amabago.

Bano mungeri yeemu basazeewo nti mu nteekateeka y’emyoga omuntu abeera yeewoze waakutandikanga okubanjibwa oluvannyuma lw’omwaka mulamba oluvannyuma lwa president okukizuula nti abantu babadde baliira ku nsiko mu bitundu okuli masaka ne Acholi mu kutalaaga kwabaddeko nga omwogezi wa Kabondo k’ababaka ba NRM Alex Kintu Brandon bwanyonyodde banamawulire.

Okusinziira ku Nampala wa gavumenti Denis Hamson Obua , ababaka ba NRM baagaaniddwa okuddamu okuleeta amabago ag’omuntu ssekinnoomu awatali kusooka kwebuuza ku bukulembeze bwa kabondo ne Ssaabawolereza wa gavumenti.

Ono era Agamba nti kino kikoleddwa okwewala okukubagana mu babaka ne mu kibiina awamu nokwongera okuzimba nokunyweza obumu.

Bo ababaka ba Palamenti betwogedde nabo nga bakomyewo bategezeza nga olusirika bwelwatambudde obulunji era nga luno lwavudemu ebibala nga bwenabadde balusubira era nga lwongedde nobumu bu bbo nga ababaka wamu ne kibiina.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *