Local

ABABAKA ABAVA MU BITUNDU BYOMUMAMBUKA BAKAAYE, SIBAKUKIRIZA MABAATI GAABWE KUTWALIBWA KARAMOJJA

14th April 2023.

Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu byomumambuka ga Uganda balumye n’ogwengulu nti sibakukkiriza kujibwako mabaati gaabwe gebalina okufuna okuva mu minisitule yaabwe eyensonga z’omumambuka okuzzaawo ago agaali gabbibwa ngagano gaalina okuwebwa abawejjere be Karamoja nga Ssabaminisita w’egwanga Robinah Nabanjja Musafili bweyali yalambika kyebagamba nti buba busosoze bwenyini.

Ababaka bano okwogera bino basinzidde kubigambo bya Ssabaminisita w’eggwanga Robinah Nabanjja Musafili byeyayogera bweyabali asisinkanye akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa kunsonga zobwa president ssabiiti ewedde ngakano kekakwasibwa eddimu ly’okunonyereza kunsonga z’amabaati agalina okuweebwa abawejere mubitundu bye karamojja .

Kati mulukungaana lwabannamawulire lwebakubye ku Palamenti olunaku olwaleero, ababaka bano bategezezza nti beewunya enkola yemirimu mu minisitule evunanyizibwa kunsonga zomubitundu byomumambuka kuba bewuuba enfunda eziwerako mu yafeesi eno ngabasaba amabaati okuyambako abantu bebakiikirira kyokka babategeeza nga bwebatalina mabaati ngakati ekyabajeeko enviiri kumutwe, kwekuwulira atte sabaminisita wegwanga nti mu store mukyalimu amabaati ga northern agawerera ddala 4500.

Omubaka akiikirira abantu ba Kole North Dr. Opio Samuel Acuti agamba sibeteefuteefu kukkiriza kikolwa kino ngakati baagala mbagirawo amabaati gano gagabibwe eri abantu abenjawulo mu bitundu byomumambuka n’oluvanyuma wabeewo alipoota enambulukufu eraga amabaati gano gyegagabanyiziddwamu okwewala ebiyinza okuddirira.

Ye omubaka omukyala akiikirira abantu be district ye Lira Awuma Linda Agnes agamba lino jjoogo lyenyini kuba abantu mubitundu byomumambuka mumbeera nnyingi balekebwa emabega ngakati kumulundi guno sibakukkiriza kusiimulirwako bitoomi.

Ye omubaka omukyala akiikirira district ye Kitgum mulukiiko olukulu olweggwanga Lilian Aber ayagala wabeewo okunonyereza okwenjawulo kungeri ebintu ebiwebwa abantu bomumambuka gyebigabanyizibwamu kuba bakoma kubilaba kumpapula naye mubantu tebituuka, ng’ono era yemulugunyizza neku minisita avunanyizibwa kunsonga zomubitundu byomumambuka gwagambye nti oba emirimu gimulemye alekulira bafune omuntu anabakorera kunsonga zabwe.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *