Local

UNEB yetaaga obuwumbi 3.5 okusomesa abakozi bayo.

14/4/23.

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo eby’akamalirizo ekya Uganda National Examination Board (UNEB) kyetaaga ensimbi eziri eyo mu buwumbi 3.5 okusomesa abakozi baakyo abagenda okuteekesa mu nkola enzirukanya y’ebyo ebisomesebwa abayizi mu nsoma eno empya ku mutendera gwa siniya.

Mu nsisinkano n’ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akavunanyizibwa ku by’enjigiriza ne mizannyo Ssenkulu we kitongole kya UNEB Dan Nokrach Odong mwasinzidde nategeeza akakiiko kano nga bwe betaaga n’okuyambibwako ne bikozesebwa bya baana abetaaga okulabirirwa okwenjawulo nga bamuzibe, bakiggala nabalala so nga ate ensimbi ntono ezibaweebwa okuddukanya emirimu okusinziira ku muwendo gwa abayizi abatuula ebigezo ogulinnya buli mwaka.

Ababaka ku kakiiko kano bagamba nti ebyenjigiriza byesigamye nnyo ku kitongole ki UNEB nga nabwekityo kyetaaga okuweebwa ensimbi ezikimala okuddukanya emirimu gyakyo.

Ssentebe wa kakiiko kano hon. John Twesigye Ntamuhiira agambye nti akakiiko kagenda kuyita abakulu mu ministry evunanyizibwa ku by’ensimbi bannyonnyole ensonga lwaki basala ku bitongole nga UNEB ensimbi so nga palamenti eba emaze okuziyisa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *