Politics

Ababaka ba palamenti bawakanya ekya Uganda okwenyigira mu ntalo ezitali zaayo naddala ku mirirwano

Abamu ku babaka ba palamenti baagala gavumenti eddire ssente zessa mu kuyambako eggye lya UPDF okwetaba mu ntalo z’amawanga amalala ezizze mu bannansi baayo kiyambeko okusitula embeera zabwe okuyita mu byenfuna ebibasoomoza.

Kino kiddiridde eggye lino eriri mu ggwanga erya Somalia okulumbibwa bannalukalala ba Al-shabab ekyabaviiriddeko okutirimbulwa bangi ne balugulamu obulamu ennaku ntono eziyise.

Kati Ababaka mu Palamenti okuli owa Mityana South Richard Lumu agamba entalo z’amawanga nnyingi Uganda zezze yeetabamu okuyambako kyokka bweziggwa amawanga amalala gegaganyulwamu kyayagala gavumenti ekomye bunnambiro amaanyi egasse mu bantu baayo kuno.

Ye Omubaka Santa Okot owa Aruu North agamba abantu bangi kati babonaabona olw’okufiirwa abantu babwe mu ntalo ku miriraano gavumenti zezze yeetabamu nga mwotwalidde ne bbaawe kati omugenzi kyagamba nti tewali nsonga lwaki Uganda eba esigala nga esindika eggye lyayo mu nsonga nga ezo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *