Politics

Ababaka kukakiiko ka ICT bakubye ebituli mu alipoota ya Minisita Chris Baryomunsi.

Ababaka ba palamenti abatuula kukakiiko ka Palamenti akeby’empuliziganya (ICT)bakubye ebituli mu alipoota ereteddwa Minisita w’ebyamawurire n’okuteekerateekera eggwanga Chris Baryomunsi ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga zeyeesigamako okuyisa ekiragiro kyokujja obulango bwa Gavumenti kumikutu gyamawurire egyobwananyini bwonna bukubibwenga kumikutu gya gavumenti gyoka.

Mu alipoota esomeddwa minisita Chris Baryomunsi, agamba omukulembeze weggwanga yasinziira kukusaba kw’omukutu gwa UBC ngabamulajanira ngabwebaali batalina nsimbi zimala ngate batubidde mumabanja agatagambika ekintu kyebamutegeeza nti kyekyaali kikyabalemesezza okukola obulungi.

Baryomunsi agamba omukulembeze bweyawurira bino olwokukuuma ekitiibwa nekufananyi kyomukutu gwa gavumenti kwekuyisa ekiragiro bano bawebwe ensimbi obuwumbi 30 mumwaka gwebyensimbi guno nobulango bwonna buzzibwe kumikutu gino nekigendererwa ekyokubbulula emikuttu gino.

Mungeri yeemu Minisita Chris Baryomunsi ategeezezza nti waliwo akafubo kebagenda okwesogga nomukulembezze weggwanga mu State House entebe olunaku olwenkya okusobola okukubaganya ebirowoozo kunsonga zino ng’era ensisinkano eno yakwetabwamu sabaminisita weggwanga Robinah Nabbanja Musafiri,Sabaworereza wa gavumenti, Abakungu okuva mu minisitule yebyamawurire , minisitule yebyensimbi, saako nekitongole ekitaba ebyempuliriziganya ekya NAB okusobola okutema empenda okulaba oba Omukulembezze anadirizza kukiragilo kye.

Ye ssentebe wakakiiko kano
Moses Magogo asaabye minister bafube okulabanga bogerezeganya nomukulembezze wegwanga okulabanga adiriza kukiragiro kye kuba kyakukosa banjji.

Wabula ono agamba ssabiitii ejja ng’akakiiko bakwanjurira Palamenti alipoota enambulukufu.

Bya joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *