Politics

Ebya AArinaitwe Gilbert Bwana bibi

Omwogezi wa Uganda
Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nateegeza nga ekitongole kya SGBV/TIP ku kitebe kya bambega nga kikolera wamu ne Poliisi y’ettundutundu lya Kampala Metropolitan Police South, bwebaguddewo omusango ku D/SP Arinaitwe Gilbert Bwana, ngakola mu kitongole ky’ebyokwerinda ekya Crime Intelligence emisango gyokukukusa abantu n’ekigendererwa ekyokwegatta nabo ku buwaze.

Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa.

Kigambibwa nti Arinaitwe yaleeta omuwala ow’emyaka 23 okuva mu Disitulikiti y’e Ntungamo okukola ng’omukozi wa waka wabula kigambibwa nti ate ono yamukaka akaboozi emirundi egiwerako mu maka ge e Bbandwe – Nalumunye nga 25-7-2023.

Poliisi egamba Arinaitwe yakwatibwa era nanoonyerezebwako, nga bamututte mu Kkooti avunaanibwe nga n’emisango emirala bakyalinda ebinaava mu DNA balyoke bagimugguleko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *