Politics

Akakiiko ka COSASE kagenda kusisinkana sipiika okumalawo obutakaanya

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti aka COSASE bakiriziganyizza okusisinkana Sipiika wa Palament Annet Anita Among okulaba butya bwebayinza okugonjoola n’okumalawo obumulumulu n’embeera y’okusika omuguwa eri wakati wa Sipiika wa Palamenti ne sentebe wa kakiiko kano Joel Sennyonyi .

Okusinziira ku Babaka bano abamu betwogeddeko nabo bagamba singa tebasitukiramu kino kigenda kwongera kutyoboola kitiibwa kya palamenti nga baamaze dda okusisinkana Ssentebe wabwe Joel Ssenyonyi era nebassa kimu nga nkuyege okulaba nga ne Sipiika bamusisinkana okutereeza embeera.

Okusinziira ku mubaka w’ekitundu kya Rukiga Rowland Ndyomugyenyi agamba nti nga ababaka basazeewo okuddamu okusisinkana sipiika wa palamenti nga emu ku nsonga kwe kusala enttoto ku ngeri gye bagenda okutambuzaamu emurimu omwaka guno okusobola okwewala embeera ya Sengavuddemu ngazeemu.

Omubaka wa Kawempe south Bashir Kazibwe naye alaze obwennyamivu olwembeera eriwo wakati wa sipiika ne sentebe Senyonyi era agamba basuubira ensisinkano eyo okuvaamu ebibala, ngono era asabye ne babaka banne okujjumbira okuwuliziganya nga akakiiko ku nsonga eziba zibakakatako.

Ate ye omubaka we kitundu kya Agago David Lageni naye alaze obwennyamivu olwembeera eno eriwo wakati wa Ssenyonyi nga agamba nti tewali kigenda kugenda mumasso singa endoliito zino tezigonjoolwa..

Akubiriza palamenti Annet Anitta Among gyebuvuddeko yayambalira Ssennyonyi ku ngeri gyabadde akulemberamu akakiiko, n’alemwa n’okubaako alipoota zakoze wabula ensonga za kakiiko nazaanika mu mawulire. Omubaka Ssenyonyi naye ng’ayita ku mukutu gwe naye yalangira Sipiika akutaataganya akakiiko nga kakola emirimu gyako kko n’ensonga endala zazze ayogerako omuli okutuulira alipoota kwebyo ebyazuulwa akakiiko bwekaali kanonyereza ku mivuyo ejiri mu kampuni ya Uganda Airlines.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *