Politics

Okunonyereza ku nzirukanya y’emirimu mu NSSF kutandise

Akakiiko akaateekebwaawo okulondoola enzirukanya y’ekittavu kya bakozi ekya NSSF kamalirizza buli kimu ekyetaagisa okutandika ekkatala eryakaweebwa ery’okunoonyereza ku nzirukanya y’ekittavu kino.Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko kano Mwine Mpaka waliwo byebakkiriziganyizaako mukafubo kebabbaddemu nga muno balambise eby’okutandikirako omuli abantu abokusisinkana n’ebitongole .

Mpaka alaze nga bwebagenda okutandika n’abantu abaasomola ebintu ebitali bimu ku nzirukanya yekittavu kino, abakulira ekittavu, eyaliko ssentebe waakyo , ssaabawolereza wa gavumenti, minisitule y’abakozi, minisitule ey’ebyensimbi n’ebitongole ebirala.

Wabula ensonga ya munnamagye Gen. Salim Saleh okuyitibwa Mpaka ategeezezza nti bwebanafuna obujulizi obuwandiike obumussa mu nsonga zino waakuyitibwa wabula webunaabula ssiwakulabikako era nti akadde kano tebamuyina mu nteekateeka zaabwe ezokumusisinkana .Era anyonyodde kuky’okuyita ebitongole ebinji mukadde kekamu nategeeza nga bwebaagala buli nsonga okumulungulwa mukadde ako nga yensonga lwaki ebitongole ebimu byakulabikako mukaseera kekamu.

Ebintu eby’okutunuulirwa mukulondoola kwabwe kwekuli engeri akulira ekittavu kino jeyalondebwaamu, enzirukanya y’ekittavu, embeera y’ensimbi z’omukozi aterekamu n’ebintu ebirala.Wabula ategeezezza nga bwebatajja ku kontana na kunoonyereza kwa kaliisoliiso wa gavumenti era nti balina essuubi nti baakumusooka okukola alipoota wabula nti bwewanabaawo ebiwandiiko byebetaaga bakubimusaba .

Ensonga y’okubeera nga buli kakiiko akatekebwaawo palamenti gwebakakwaasa ategeezezza nga naye bwatakiyinaamu mukono wabula nampala wa gavumenti yawaayo erinnya lye nga bannampala abalala bwebakola ku bantu abalala abalondebwa ku bukiiko buno.Akakiiko kano olunnaku olw’enkya lwekatandika emirimu jaako mubutongole.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *