Politics

Akakiiko ka palament akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kalaze obweralikirivu.

Ababaka mu palament abatuula ku kakiiko akalondoola ebisuubizo bya gavumenti aka Gavumenti Assurance balaze obweralikirivu ku ngeri emirimu egisibwamu gavumenti ssente bwegikolebwa ebiseera ebisinga negimaliriza nga tewali ggwanga kyeriganyuddwamu olwabo abagikwasibwa nga balina ebigendererwa ebyokwekkusa bokka.

Bano basinzidde ku luguudo olugenda maaso n’okuddaabiriza olwa Kampala-jjinja road high way lw’ebagamba nti ensimbi y’omuwi w’omusolo nnyinji eteereddwamu nayenga omulimu ogwakakolebwako tegutuukana n’amutindo.

Ababaka okwogera bino kidiridde omulimu gwokulambula oluguudo luno ogukulungudde ennaku bbiri ng’akakiiko kekeneenya engeri omulimu guno gyegutambulamu newegutuuse.

Omubaka wa Bujjumba county mu district ye Kalangala Julius Mukasa Opondo obuzibu abutadde ku kitongole ekivunanyizibwa ku nguudo ekya UNRA kyagamba nti tekikoze kimala kulondoola ku ngeri kampani zebawa kontulakiti gyezitambuzaamu emirimu gyayo kyagamba nti kyekiviriddeko obubenje okweyongera n’ensimbi yomuwi womusolo okuffa ttoge.

Ye omubaka wa bukoto county Mid-west Isaac Ssejoba agamba oluguudo luno olwa Kampala-jinja high way lwankizo nyo eri ebyenfuna ya Uganda ngera ayagala luddabirizibwe mungeri eyenjawulo.

Omubaka wa lugazi municipality Stephen Sserubula n’omubaka wa Buluuli mu masindi district Alled Ronald Akuguzibwe b’ekokodde olwebinya ebiyitiridde ku luguudo luno ngate n’obufunda lufunda kyabambye nti lwetaaga okugaziya.

Oluguudo olw’ogerwako olwa Kampala-jinja highway nga lw’akwasibwa Kampuni ya Energo okuludaabiriza mu mwaka gwa 2021 ku buwanvu bwa kilomita 72 ng’era lwatekebwako ensimbi ezisoba mu buwumbi 82 ng’alwali lwakuggwa mu mwezi gwomukaaga Omwaka guno nayenga bwowulira bino ebitundu 30% bye by’akakolebwako.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *