Politics

Gavumenti ya Uganda eteereddwa ku ninga ku bigenda mu maaso mu Kenya

March 29, 2023

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anita Among alagidde gavumentu okwanja enteekateeka zebalina okutaasa Uganda ku mbeera egenda mu maaso mu ggwanga erya Kenya.

Eno sabiiti yakubiri nga bannansi b’eggwanga erya Kenya bekalakaasa, oluvanyuma lw’okudduumirwa eyali yesimbyeewo ku bwa pulezidenti mu kulonda okuwedde Raila Odinga. Bano bekalaakasa olw’ensonga ezitali zimu omuli ebbeyi y’ebintu ebikozesebwa ewaka eyekanamye , ssaako n’okulaga obutali bu mativu n’ebyava mu kulonda William Ruto mweyawangulira.

Ensonga ye Kenya ereeteddwa omubaka wa Nakaseke South Lutamaguzi Ssemakula nga ono ategeezezza palamenti nga gavumenti bwetalina kyekoze ku bigenda mu maaso mu ggwanga erya Kenya. Ono ategeezezza nti gavumenti esaanidde okulaga enteekateeka zebalina ku nsonga eno engeri jekiri nti kati kafuuse kagenderere mu ggwanga erya Kenya okwekalakaasa buli lunnaku olwa Monday, ono era asabye ne pulezidenti okubaako kyayogera.

Wabula minisita David Bahati agumizza eggwanga nga bwebalondoola buli kimu ekigenda mu maaso mu ggwanga eryo, era nti balina okukkiriza nti ensonga ezo zaakugonjoolwa era baddemu batambule bulunji .

Mubuufu bwe bumu omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anita Among asabye gavumenti etangaaze ku nsonga z’amaterekero gamafuta oba nga uganda tulinamu agalimu. Minisita Bahati abadde asuubizza nga bwagenda okwebuuza ku minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’amafuta alabe agalimu , wabula wano sipiika Anita among wasinzidde n’alagira gavumenti okuleeta alipoota eyawamu ekwata ku nteekateeka gavumenti jerina ku bigenda mu maaso mu ggwanga erya Kenya .

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *