Politics

Akakundi kabannamawulire abalwanyisa akakiiko ka COSASE kazuuliddwa


15th/09/22

Akakiiko ka Palamenti aka Cosase akali kugwokulondoola ebitongole bya Gavumenti engeri gyebikozesamu ensimbi yomuwi womusolo,kakizudde nga bwewaliwo abeyita bannamawulire abakolera kumutimbagano bayite ba Bloggers,abatukilira Nnankulu wekitongole Kya Uganda Airlines Jennifer Bamuturaki nebamusaba okubawa endagano yokuwandika nga amawulire agawana Company eyo ggoka era nokulwanyisa abo bonna abanaba bajeyo emitwe okwagala okumuremesa omulimu gwe.

Ssentebe wa Cosase Joel Ssenyonyi asinzidde ku Palamenti nagamba nga bwewaliwo ekibinja kyabannamawulire abakolera kumutimbagano wansi wekibiina mwebegatira ki Independent Journalists Association(ija) abaludde nga bavumirira akakiiko ka Cosase engeri gyekakolamu emirimu, abakakiiko Kano kwevayo nekanonyereza lwaki bannamawulire abamu bavuluga enkola yabwe,kwekukizula nti bano babadde bateeka munkola ebyakiriziganya mundagano eyakolebwa wakati wa Jennifer Bamuturaki nebannamawulire abo.

Ssenyonyi alaze bammemba bakakiiko obujulizi bwona obukwata kundagano eyakolebwa wakati wabannamawulire abo ne mukyala Bamuturaki ngeraga nti buli mwezi basasulwa ensimbi obukadde 13m obwa Shillings,nga omwaka gonna bakuwebwa ensimbi obukadde 156m.

Endagano kakoknge kamumulyango yatekebwako emikono mu December womwaka oguwedde 2021wakati wa Bamuturaki me Andrew Irumba agambibwa mbu ye President wabannamawulire abakolera kumutimbagano, wabula Irumba nasaba Company ya Uganda Airlines okuza endagano eyo emabega okuva mu April Womwaka oguwedde 2021, basobole okufuna akabwe konna , Jennifer Bamuturaki kyeyakiriza abakulu basobole okufuna akabwe konna.

Ssenyonyi Ssentebe wa Cosase ategezeza Bannamawulire nti ba Bloggers ba Andrew Irumba omulimu bagukoledde ddala bulungi ogwokuvumirira akakiiko era nga alaze bammemba ba Cosase nebannamawulire obujulizi.

Bamuturaki nebakozi banne mukitongole kyenyonyi ya Uganda Airlines abalabiseko mukakiiko olwalero, bwebabuzidwa ebikwata kundagano eyo nabyo babyesambye, wewawo abamu babadde balaga nti babimanyi okukakkana nga Joel Ssenyonyi alagidde Akulira Poliisi ya Palamenti ekwate Regina Tebasima abadde avunayizibwa okufuna nga alipota zabannamawulire abo buli mwezi aretebwe eri akakiiko abanyonyola

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *