Politics

Amyuuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa asiimye emirimu gya UPDF.

Omumyuuka wa sipiika wa palamenti Hon. Thomas Tayebwa asiimye UPDF emirimu gyebakola era nabasuubiza obutabavangamu nga betaaga obuyambibwe mungeri yonna.
Bino Tayebwa abyogeredde kukitebe ky’amagye ekikulu e’Mbuya bw’abadde atongoza emikolo gya Tarahe Sita egigenda okumala wiiki namba mukitundu ekye’Mbarara.

Emikolo gya Terehe Sita gyiberawo buli mwaka era nga gyitambula wiiki namba mubitundu byegwanga ebyenjawulo nga okutandika n’olwaleero abasirikale okuva mu bitundu ebyenjawulo bakutandika ebikujjuko ebyenjawulo, nga emikolo egyifundikira egy’omwaka guno gyakubeera Kakyeeka mu distict eye’Mbarara nga 06/02/2023.
Mungeri yemu UPDF yakukuba ensiisira z’ebyobulamu mubitundu ebyenjawulo nga kino bakukikola n’abantu babuligyo naddala awo ewanabeera emikolo gyino.

Ekibiina ekikuuma sente z’abasirikale ekiyitibwa WAZALENDO SACCO nga kiyita mukuyamaba UPDF okukuza Tarahe Sita eyenjawulo bawaddeyo ebintu ebikozesebwa mumalwaliro agenjawulo mu District ezikola Western region
Wazalendo ewaddeyo ebitanda n’ebipipa ebikola mumalwaliro era nga Col. Geophery Onata nga y’akulira emirimu kulwa Wazalendo ategezeza nti bakuyamba nyo abantu babuligyo kuba bbo bakolagana n’abantu kyekibafula Sacco eyenjawulo.


Mungeri yemu Col. Onata ategezeza nti bukutendeka abakulembeze ba SACCO eyenjawulo mu bbendobendo lye’Mbarara kuba bakizudde nti SACCO nyingi tezikola bulungi era nga nyinji zigudde nga kiva munzirukanya etali nungi.

Ebikozesebwa bikwasiddwa Gen. Henary Masiko kulwa UPDF era nasiima Wazalendo okuvayo nenteekateeka eno nga bazze bakikola era nga guno mulundi gwakusatu nga bayambako UPDF mumikolo gino

Bya Ali Ssewanyana

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *