Local

Bannamawulire abagasakira ku palamenti baweze okusibira gavumenti ekikookolo.

24,/07/2023.

Bannamawulire abagasakira ku palamenti abeegattira mu kibiina ekya Uganda Parliamentary Press Association (UPPA) baweze okusibira gavumenti ekikookolo era ne bakuba ebituli mu kiragiro kya President okuwa emikutu gya gavumenti egyamawulire gyokka ebirango bya gavumenti olwo egyobwanannyini gisigale nga tegikyafuna kirango (business) kuva eri gavumenti.

Kati bannamawulire bano beegasse ku balala okuli n’ekitongole ekitaba emikutu gy’ebyempuliziganya ekya NAB abaavayo ne kiwandiiko sabiiti ewedde okuzira ensonga za gavumenti zonna okutuusa nga ekyusizaamu mu kusalawo kuno era olwaleero UPPA nga ekulembeddwamu presidenti wabwe Sam Ibanda Mugabi bagamba beraliikirivu ku kisalawo kuno kwebagamba nti nti kuyinza n’okuleetera abamu okusalwa ku mirimu nga ensimbi zikendedde okuva ku bakama babwe kko ne mikutu egimu egijuliridde okuggalawo nga tegikyalina nsimbi.

Bano bakunze banaabwe okusibira ekikookolo entekateeka za gavumenti omuli ne ba minister nga bazze mu bukiiko bwa Palamenti obutabatunuzaamu camera wadde recorder eze mikutu egitali gya gavumenti webasabidde president okukyusamu mu kusalawo kuno bunnambiro.

Bannamawulire bano era basabye Pulezidenti Museveni okuddamu okuloowooza ku kukyusa ekiragiro kino kubanga kyakuleeta obusosoze mu kisaawe ky’ebyempuliziganya ngate ne gavumenti ejja kuba yeekotogedde kubanga mu kiseera nga Covid weyalumbira eggwanga gino gye mikutu gyeyakozesanga okuwa abantu obubaka nga negimu tegisasuddwa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *