Politics

ABABAKA BA DP BASIIBUDDE MOA MU BUTONGOLE, GENDA MU NRM EKUWA EMIREMBE

24/07/2023

Waliwo abamu ku babaka mu Palamenti abekibiina kya Democratic Party (DP) abalumye n’ogwengulu nga baagala ssenkaggale w’ekibiina kyabwe Nobert Mao ayabulire ekibiina kyabwe nga bweyasazeewo okwanjulwa mu kibiina Kya NRM mu butongole kyebagamba nti kikontana ne Ssemateeka afuga ekibiina kyabwe ekya DP.

ku lw’omukaaga lwa sabiiti ewedde Nobert Mao yategeka omukolo gw’okumwaniriza ewaka(home coming) oluvannyuma lw’okutuuka ku buwanguzi obwenjawulo ogwali mu kisaawe e’Ggulu era abanene bangi mu gavumenti abagwetabako omuli nemuganda w’omukulembeze w’eggwanga Salim Saleh eyakiikiridde omukulembeze w’eggwanga.

Mu kaseera keekamu omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni nga ayita ku kibanja kye ekya Twitter yafulumizza ekiwandiiko nga yebaaza Ssenkagale we kibiina kya DP Nobert Mao olw’okubegattako nga banakibiina kya NRM mukunywezza enkolagana yaabwe ne kibiina kya DP.

Kati ababaka bano mu lukungaana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku Palamenti olunaku olwaleero, bategeezezza nti omukolo ogwabadde e’Ggulu gwabadde gulambika bulungi kiki Mao kyateegeza eri ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM ng’ate nekisinga okwennyamizza kwe kubanga ekibiina kyabwe akiremeddemu.

Omubaka wa Mukono south Fred Kayondo agamba nga bwekirinti omukulembeze w’eggwanga bweyavuddeyo nalangirira wamu n’okwaniriza Mao mukibiina AAkya NRM mu lujudde kati akole okusalawo okulungi nga takakiddwa.

Omubaka wa Bukoto Central Richard Ssebamala agamba singa Nobert Mao aremera mu kibiina kyabwe baakwekumamu ogutaaka bekalakaase okutuusanga banunudde ekibiina kyabwe.

Kyokka bbo ababaka okuli owa Buikwe south Hon. Dr Lulume Bayiga n’omubaka wa Mityana south Richard Lumu bagamba Mao asaanye ave mu kwebuzaabuza wabula aveeyo ategeeze eggwanga kiki kyaali era abalekere ekibiina kyabwe bakitwale mu maaso.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *