Islamic

District kadhi wa Kayunga Dr Hafizh Bukenya addukiridde abantu be n’embuzi 100.

Office ya District kadhi wa Kayunga Bugerere Dr. Hafizh Muhammad Haruna Bukenya eddukiridde abantu kukyalo Wabirongo mu gombolola ye Nazigo mu district eno n’ebintu ebikozesebwa mubulamu obwabulijjo wamu n’embuzi ez’okulunda ezisooba mu 100 okusobola okwekulakulanya okwongera kunyingiza mu maka gabwe.

Ebintu ebiweereddwa abantu mulimu omukyere,sukali,obuwunga,sabuuni,soda wamu nebutto. Abatuuze abasoba mu 300 bebaweereddwa ebintu bino wamu ne family eziri eyo mu 100 buli family eweereddwa embuzi enkazi emu zibayambeko okulunda bongere kunyingiza mumaka. Abantu abaganyuddwa munteekateeka eno mulimu abakadde,abaliko obulemu,banamwandu,bamulekwa wamu neba kateyamba.

Bwababadde akwasa abantu ebintu district kadhi wa Kayunga Bugerere Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya asabye abaweereddwa embuzi okuzikuuma obulungi zizaale basobole okufunamu ekinagulira magala eddiba. Abalabudde obutazitundirawo kubanga mpawo kyebajja kifunamu okujjako nga zizadde neziwera.

Hafiz Bukenya asabye government okweyambisanga kubakulembeze b’amadiini okubunyisa enteekateeka zayo ezikulakulanya abantu n’okutuusa obuweereza bwayo eri abantu kubanga bbo batukkira ddala mu bantu abeetavu.

Dr Bukenya agambye nti ebitundu kye wabirongo mu Kayunga kyekimu kubitundu ebirimu abantu abangi ate nga beetavu nasaba abalina obusobozi okwongera okukwasizako abantu bano.

Bbo abatuuze be Wabirongo basiimye nnyo district kadhi wabwe Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya olw’ekkula lyabawadde nebamusabira Katonda okumubakuumira n’okumuwa omukisa.

Bya Tenywa Ismail.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *