Politics

Dr.Hafiz Bukenya alayiziddwa kubwa Kadhi.

District Kadhi wa Kayunga Bugerere Muslim District council Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya alayiziddwa era natuzibwa mubutongole kubwa Khadhi bwa Kayunga wamu n’olukiiko lwaddukanya nalwo emirimu.

District kadhi Hafiz Bukenya abamu kubalayidde nabo kuliko olukiiko lwa bama sheikh olwa district,olukiiko olddukanya emirimu,chairman w’obusiramu e’Kayunga wamu n’abakulu bamatwale ga Kayunga.

Dr Hafiz Bukenya alayiziddwa mufuti wa Uganda Dr Shaban Ramadhan Mubajje. Omukolo guno guyindidde kukitebe ky’obusiramu e Kayunga e Kyelima.

Omugenyi omukulu abadde omumyuka wa Sabaminisita ow’okusatu Rt. Hon. Rukia Isanga Nakadama nga mububaka bwa pulezidenti obusomeddwa asabye abakulembeze ba Kayunga okalagana obulungi nebana Kayunga mukuletawo enkulakulana ebuna wonna era etaliimu kusosola.

Agambye nti gavumenti etaddewo amakubo agasobozesa abantu okwekulakulanya omuli emyoga,Parish Development Model nendala ezenjawulo.

Akalatidde abakulembeze kumitendera gyonna okwagazisa abantu enteekateeka ezikulakulanya.Pulesidenti Museveni era asabye banna Uganda okukomya okolerera embuto zokka wabula nokwongera kunyingiza mumaka.

Mububaka bwe District kadhi wa Kayunga Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya nga yakamaliriza okukuba ebirayiro yeyamye okwongera okugatta obusiramu bw’eKayunga wamu nokusakira abantu be nga kwatadde n’enkulakulana nga tajirese mabega.

Minisita wa Kampala Hon. Hajjat Minsa Kabanda ayozayozeza sheik Bukenya olwokutuuka kukkula lino nasaba abasiramu okubeera obumu nategeeza nga bwebefunyiridde mukuddabiriza enguudo zomu Kampala okutukagana n’omulembe.

Omubaka wa Bbale mu palamenti Hon. Charles Tebandeke asabye oluguudo lwe Kayunga okudda e Galilaya lukolebwe kubanga luyunga ebitundu bingi nga nebyamaguzi bingi ebiyita kulugudo luno

.

Omukolo guno gwetabiddwako minister wa Kampala Hon. Hajjat Minsa Kabanda,minister omubezi ow’ensimbi Hon. Amos Lugolobi,Ssabawandiisi wa UMSC Hajji Abas Sekyanzi Mulubya,omumyuka wa mufuti ow’okubiri Dr. Muhammad Ali Waiswa,akulira Dawa ku UMSC sheik Imran Ssali,Ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Karangwa,RDC wa Kayunga Hajji Moses Ddumba,ba nabalala bangi.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *