Politics

Mulondoole abaana muluwummula-Hajji Busulwa.

Eyaliko Sentebe w’ekitongole ekigata ebibiina ebitwala abalamazi e Makkah ekya Federation of Uganda Hajj Bureau Sheik Abdul Noor Busulwa ajjukiza abazadde okunnyikiza okusomeseza abaana mumasomero agalimu ediini kibasobozese okuvuganya mukatale k’emirimu munsi yonna.

Sheik Busulwa okwogera bino asinzidde Ndejje kusomero lya Joweria Islamic Junior school and Quran Memorization center e Ndejje Kibutika bwabadde omugenyi omukulu kumukolo gwa Islamic cultural day kwebolesereza ebitone ebyenjawulo omuli okusoma Quran,ebitontome,emizannyo egyogera kunkuza y’abaana,okusoma khutubah nebirala.

Kumukolo gwegumu eyaliko meeya wa Ndejje division Hajji Sulaiman Ssejjengo kwasinzidde nagamba nti omuzadde ataasomese mwana diini wakufafaganirwa nnyo n’okufiriza omwana ebiseera bye eby’omumaaso kubanga omuntu okubulamu ediini kimuletera okukola ebikolwa ebikyamu bingi. Agambye nti abaana balina nokusomesebwa nga bagoberera omutindo gw’ensi yonna abaana bano okusobola okuvuganya mukatale k’emirimu munsi yonna.

Omutandisi w’essomero lino erya Joweria Islamic Junior School & Quran Memorization center Ndejje Kibutika Sheik Busulwa Ali Abdul Noor asiimye nnyo abazadde ababawadde abana okubasomesa. Agambye nti olunaku luno baalutekawo n’ekigendererwa ky’okuvumbula n’okuzimba ebitone kubanga bakizuula nti nabyo biyambye okuwa abantu emirimu nokubagagawaza.

Ono era asabye abazadde okwetegereza ennyo amasomero mwebasomeseza abaana oba agasomesa abaana eddini n’ebyensi okwewaza abaana okugwa mubikolwa ebikyamu.

Omukolo guno gwetabiddwako ne ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo by’ediini kumutendera gwa Primary ekya IPLE board era omukulu w’ettwale lya Makindye Ssabagabo Sheik Ismail Kazibwe Kitiibwa nabalala bangi.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *