Local

Emotoka zamwe zakulondoolwa zonna mwagala temwagala.

Palamenti ewadde olukusa Kampani ya Russia eya Joint Stock Company Global Security okuteeka obuuma mu mmotoka z’abantu saako digital number plates ezo ezirabwa kamera okutaasa ku buzzi bw’emisango mu ggwanga. Kampuni eno esuubirwa okukola amagoba ga busse busatu nezigwamu okumala emyaka kkumi nga bajja ku bannayuganda

Gyebuvuddeko ku yafeesi ya ssabaminisita kampani eno eya joint stock Company Global Security yateeka omukono ku ndagaano ne ggwanga lya Uganda okuteekeramu bannayuganda obuuma mu motoka obubaloondola wonna webali.

Nga kati okuvuga endiima engasi ya shillings 250,000, omugoba w’ekidduka okukyuukira watalina kukyuukira engasi ya shillings 70,000 n’okwebalama ebitaala bya traffic engasi ya shillings 130,000.

Okusinziira ku amyuuka Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akavunanyizibwa ku by’enguudo n’obuzimbi Robert Kasolo,agamba enteekateeka eno egendereddwamu okulwanyisa obumenyi bwa mateeka omuli n’ettemu erisusse mu ggwanga ko nokulondoola abo abanyomoola amateeka g’okunguudo.

Kampuni eno eya Joint Stock Company Global Security Company eya Russia esuubirwa okukungaanya amagoba ga trillion 3 nobuwumbi 600 mu bbanga lyamyaka 10 gyegenda okumala ng’eddukanya omulimu gwokuteeka obuuma obulondoola ebidduka mu ggwanga

Sentebbe wa kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda Rosemary Nyakikongoro agamba obuuma buno bwakuyambako okutaasa abantu ababadde basibwa ngate ssibebazizza emisango nga kino kyakwanguyiza ebitongole ebyenjawulo ku bukakafu.

Abalina emmotoka mu kiseera kino bakusasula shillings 560,000 okufuna akuuma akalondoola ekidduka awamu ne namba plate endala songa abanaagula emmotoka empya, bakusasula shillings 750,00

Eno ssiye nteekateeka esoose okuleetebwa gavumenti wakati mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka, nyingi zizze zibbaawo n’ensimbi eziziyimirizaawo neziyisibwa newankubadde bwo obumenyi bw’amateeka omuli n’obutemu buli olukya bweyongera nga mukino omubaka wa Munisipaali y’eMukono Betty Nambooze Bakireke byonna agayise malya ga nsimbi.

Bya Namagembe Joweria.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *