Education

Diguli zamwe ntuufu minister agumizza bannayuganda

Minister w’ebyenjigiriza ebya waggulu, Hon J.C Muyingo, awadde bannayuganda esuubi nga degree zabwe z’ebafuna mu matendekero agenjawulo bwe ziri entuufu, nga Kati tebalina kwelalikirira kino kyavudde ku kitongole kya NCHE okulaba nga diguli zino bwe zaayitako nga bayita ku mutimbagano gwabwe.

Olunaku olw’eggulo amyuuka sipiika wa palamenti n’ababaka emitima gyabadde gyibatundugga nga eyabuulira ow’olugambo oluvanyuma lw’ekitongole ekitwala ebyenjigiriza ebya waggulu ekya National Council for Higher Education okuteeka ezimu ku koosi zaabwe zebaasoma okulaba nti zaayitako.

Kino kyawalirizza amyuuka sipiika Thomas Tayebwa okulagira minisita w’ebyenjigiriza okulabikako ekintu kyakoze enkya ya leero mu Palamenti.

Minister w’ebyenjigiriza ebya waggulu bwabadde asisinkanye bannamawulire ayongedde okugumya abazadde abayizi nga degree zebaafuna bwe ziri ennamu era nga ntuufu.

Ono ayogedde ku kiki aba NCHE kye babadde bategeeza okugamba nti ziri expired ono agamba nti ebisomesebwa mu matendekero gano beebalina okubitunulamu.

Ssabawolereza wa gavumenti Kilyowa Kiwanuka naye alaze nga mu mateeka ge ggwanga nga degree zino ezoogerwako bwe ziri entuufu.

Ababaka basabye ministry y’ebyenjigiriza okwetereza mwebyo byebakola, ne byebawa eggwanga saako okutuusa okutumbula eby’enjigiriza ebiri ku mutindo gw’ensi yonna.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *