Politics

Gavumenti ekozese abakulembeze b’eddini mukubunyisa enkulakulana mubitundu. Sheikh Kigozi.

Omukulembeze wa district y’obusiramu eya Wakiso Muslim district Mawulana sheik Elias Kigozi Nkangi asabye gavumenti ya uganda okukozesa abakulembeze beddiini mukutuukiriza n’okubunyisa enteekateeka za gavumenti ezikulakulanya abantu.

Sheik Kigozi okwogera bino yasinzidde ku masjid Rahman Nansana mu Wakiso bweyabadde yetabye mukusaala Eid El-Fitri. Sheik Elias kigozi yagambye nti bbo nga abakulembeze b’eddiini bebasinga okubeera n’abantu bano ebbanga eddene okusinga abakulembeze ku mutendera ogwawaggulu nebanabyabufuzi. Ayongedeko nti kino bwekinaaba kikoleddwa bwekityo enteekateka za gavumenti zakutambula bulungi nga tezitaataginyiziddwa.

Mububaka bwe eri abasiramu abasabye okubeera obuumu mubuli nsonga basobole okutuka kunkulakulana egasa obusiramu kubanga obumu g’emaanyi aganabatuusa kubuwanguzi. Okusaala kuno kwetabiddwako Dpc wa Nansana Afande Tayebwa n’omubaka wa president owe wakiso Justine Mbabazi nabalala.

Bya Tenywa Ismail.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *