Islamic

Embuzi musanvu ziweereddwa abawanguzi mu mpaka za Quran mu Wakiso.

Omukulembeze wa district y’obusiramu eya Wakiso muslim district Sheik Elias kigozi Nkangi agaddewo empaka za Quran okuva mu matwaale agakola district eno. Emikolo gino egyibadde mutwaale erya Kira, wasinzidde naawa abawanguzi embuzi eziweredde ddala 7 nga akulembedde afunyeeko bbiri beddu.

Sheik Kigozi akuutidde abazadde wamu n’abaana okunyiikira okweekwata ku Quran kubanga ejjudde e ‘mikisa wamu n’okwesiima.

Mungeri yemu district kadhi ono asabye abasiramu bonna okuyitiriza okukola emirimu emirungi oluvanyuma lwa Ramadhan kubanga bangi bawumuzaamu buwumuzza bikolwa byabwe mukisiibo ate bwekigwaako nebaddamu emize emikyamu ekintu ekyobulabe.

Amatwaale agetabye mu mpaka zino kuliko erya Kira, Kasangati,Masulita,Nsangi, Gombe Kitaasa,Nabweru ne Nansana.

Omuwanguzi w’empaka zino awereddwa kimeme z’embuzi 2,owokubiri naweebwa emu wamu nezi certificate era ebilabo bino biwereddwayo office ya district kadhi wa Wakiso Sheik Elias Kigozi.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *