Business

Kampuni ezitwala abantu ebweru zirabuddwa olw’okusuulirira abaana bezitwala

Ekibiina ekirwanirira Eddembe lya Bankuba Kyeyo mu Ggwanga ki Migrant Workers’ Vioce kirabudde Kkampuni okwasanguzi Kkampuni ezitwala Bannayuganda ebweru w’e Ggwanga okukuba ekyeyo kyokka ne nezitabafaako nga batulugunyizibwa nga n’abamu oluusi battibwa.

Pulezidenti Migrant Workers Abudallah Kayonde asinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire bwelabangiriridde nga bwebasazewo okwetaba mu misinde egitegekeddwa Gavumenti ku Kisaawe e Kololo Wiiki ejja nga bbiri ogwekkumi nga eri ku makubo ag’okwongera okulwanirira bankuba Kyeyo abatulugunyizibwa mu Mawanga ga Buwarabu okuli;Dubai,Saudi n’awala.

Kayonde agamba nti Gavumenti ebadde yalwawo okutegeka emisinde gino kuganga Bannayuganda bangi abazze batulugunyizibwa nga bali ku mawanga n’alabula nti Kkampuni yonna etwala Bannayuganda ku Kyeyo enagaana okwetaba mu misinde gino baakujasanguza kuba Kkampuni ezo zivaako Bankuba Kyeyo okutulugunyizibwa.

Kayonde asabye ne Gavumenti okwongeramu amaanyi okusigako awo okulabanga Bannayuganda abali ku Kyeyo tebatulugunyizibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *