LocalPolitics

Kasule Lumumba alemereddwa okunyonnyola kubikolwa bya poliisi e’Hoima

Minisita waguno naguli mu yafeesi ya ssabaminisita Justine Kasule Lumumba asanze akaseera akazibu mu Palamenti oluvanyuma lw’okulemererwa okunyonnyola kwani avunanyizibwa kubikolwa ebyakolebwa abasirikale ba poliisi mu district eya Hoima bwebaali bagumbulula abantu abaali bakunganye okujaguza olunaku lw’abakyala ngabayita mu muzannyo gw’omupiira gw’abakyala ogw’ebigere.

Kino kidiridde omubaka wa Hoima city mu Palamenti Hon Nyakato Asinansi okunyonnyola Palamenti engeri abasirikale gyebeyisaamu ngabagoba abantu okuva mu lukungaana luno newankubadde ngabano baali bamaze okufuna olukusa okuva mubeby’okwerinda.

Omubaka Asinansi Nyakato anyonnyodde palamenti nti yakwatibwa ab’ebyokwerinda mungeri eweebuula, bweyari kubikujjuko ebyokukuza olunaku lw’abakyala mu Hoima city nga 8th omwezi guno era nga kigambibwa nti omubaka wa president atuula mu district ye Hoima Badru Mugabi yeyalagila abasirikale okutandika okuwewenyula abatuuze kibooko ezitagambika,okubakubamu omukka ogubalagala ssaako n’okusiba abantu awatali nsonga.

Kati Ono ayagala Rcc abonerezebwe olwokwenyigira mu kumenya amateeka, ministry yobwapulezidenti eveeyo enyonyole kukigendererwa Kya RCC,nabuli eyenyigira mukutyoboola eddembe lyabanna Hoima okukangavvulwa.

Wabula minister waguno naguri Justine Kasule Lumumba, asoose nsonga zino kuzikwasa minisitule y’ensonga zomunda mu ggwanga ng’agamba nti minisitule y’obwapulezidenti siyevunanyizibwa kunsonga eno ng’era wakukwatagana neminisitule eno ejje ne alipoota enambulukufu.

Kino kitabudde omubaka wa kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda ngagamba nti minister Lumumba ave mukubalaatira mu nsonga zaba RCC abagufuula omuze okutigomyanga banabyabufuzi.

Sipiika wa palamenti Anet Anita Among asinzidde wano nasaba Minister Lumumba akolagane ne minisitule evunanyizibwa okulabanga abantu abenyigira mukutyoboola eddembe lyabaana Hoima bakolebwako nga amateeka bwegalagira, era Lumumba kyakkirizza.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *