Politics

AB’OLUDDA OLUWABULA GAVUMENTI BAZIZE OLUTUULA LWA PRESIDENT MUSEVENI

Aboludda oluwabula gavumenti mu palamenti bavudde mumbeera nebazila olutuula lwa Palamenti olw’olunaku lw’enkya olugenda okwetabwamu omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni olugenda okutuula ku kisaawe e’Kololo.

Olunaku olwenkya nga 16th March Palamenti egenda kutuula kukisaawe e’Kololo ngawano omukulembeze w’eggwanga wagenda okwogerako eri ababaka ba palamenti kunsonga ezenkizo mu ggwanga ng’era Sipiika wa palamenti Anita Anet Among yalagira ababaka bonna okwetaba mulutuula luno.

Kati ababaka abari kuludda oluwabula gavumenti nga bakulembeddwamu omubaka wa Busiro East Merdard Lubega Ssegona mulutuula lwabanamawulire lwebatuuziza ku palamenti olunaku olwa leero, bagamba olunaku olw’eggulo batudde nebasalawo obutetaba mulutuula luno nga akamu kukabonero akalaga obutari bumativu eri omukulembeze w’egwanga kunsonga ezenjawulo.

Sseggona agamba ensonga nyingi ezibaletedde okukola okusalawo okwo omuli omukulembeze w’eggwanga okuziimuulanga ebintu ebiba bisaliddwawo Palamenti, okugoba ba minister be ate nabaleka ngabayinayina,ekiwamba bantu,enguzi ekutte egyembe mu gavumenti ya NRM,obusosoze obususse,ngokwo kwotadde obukwakulizo obubateekebwako buli lwebasisinkana omukulembeze w’eggwanga.

Wano Ssegona era talemye nakwogera ku nsonga zaba minister abenyigira mubuli bwenguzi natabaako kyabakola nga Kati bagamba tebayinza kubeela namuntu abiibiita bali banguzi.

Bano okuvayo kidiridde omubaka we Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda okuvaayo nayogera kunsonga eno olunaku olw’eggulo mu lutuula lwa parliament nga ye mulugunya kubukwakulizo obubatekebwako nga omukulebeze w’eggwanga anabasisikana sipiika kyeyamwanukudde nti pulezidenti alina obuyinza okubasisinkana wona wabayagadde .

Bya Namagembe Joweria.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *