Politics

LORD MAYOR LUKWAGO AKAABYE AMAZIGA, ALAJANYE BAGALA KUNZITA

Enjawukana wakati w’olukiiko olufuzi olwa KCCA n’olukiiko olukozi lw’emirimu zongedde okulanda oluvanyuma lwa Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Elias Lukwago okwasa ebyama nga minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye bwasusse okumusindikira obubaka obumutiisatiisa okwesonyiwa ensonga z’enguudo bwaba akyayagala okubeera mukifo kye era bwatyo nasaba Palamenti emuyambe eyingire munsonga zabwe ng’omusaayi tegunayiika.

Omuloodi Elias Lukwago bwabadde alabiseeko mukakiiko ka Palamenti akeby’obuzimbi aka physical infrastructure abotodde ebyama ngenkolagana ye ne minisita omubeezi ow’ensonga z’eKampala Kabuye Kyofatogabye buli lukedde bweyongera okusereba ng’akati mbu atuuse nokumutiisatiisa okusanyawo obulamu bwe.

Lukwago agamba bino yali abiyita byakusaaga ngera amanyi ensonga banazimala kissajja kikulu naye okuva lweyayingira mu nsonga zokukola enguudo za Kampala, Minisita Kyofatogabye yamuggurirako ddala olutalo era natuuka nokumusindikila obubaka kusimu obumutiisatiisa okuva mu nsonga zokukola enguudo.

Tusobodde okunonyaako ku minister omubezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye okutangaaza kunsonga eno wabula bino byona abisambazze nategeeza nti ye obubaka bweyamusindikira yali amusaba okukola emirimu gye nga Lord mayor naye amuleke akole egyiggye nga minisita.

Lukwago bwavudde awo nayongera okulabisa emivuyo egyetobese mu KCCA
bwategeezezza ababaka kukakiiko Kano nti ekyongedde okusiba ebinnya mu kibuga kampala yenkozesa yensimbi embi .

Omuloodi anokoddeyo enguudo okuli olwa kabuusu bunnamwaya Lweza oluweza kilomita 8 nga lwamalawo obuwumbi 93 nobukadde lusanvu, oluguudo lwa Lukuli Nanganda Munyonyo oluweza kilomita 7 lwamalawo 70b kyokka nga lufunda, omwala gwa lubigi oguliko km 2.5 gwamalawo obuwumbi 62, nenguudo endala kyagamba nti ssente nnyingi nnyo nga tebasobola kunnyonnyola byezaakola.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *