Politics

Masjid Ibrahim Guggwa eguddwawo mu butongole.

Nakwero.

Omukulu w’olukiiko olukulembera ba masheikh mu office ya supreme mufti e’Kibuli Sheik Muhammad Abdul Noor Lunanoba asabye abasiramu abalina obusobozi okuzimba emizikiti kulwa Allah yekka yajja okubasiima n’okubasasula.

Sheik Lunanoba okwogera bino asinzidde Nakwero Gayaza mukuggulawo Masjid ebbuddwamu omugenzi muwalimu Ibrahim Guggwa eyali omuwalimu w’omulangira Bwana Nooh Mbogo Kyabasinga nga ono yazaala Hon. Al-hajji Ali Sserunjogi atemera mujjobukulu 92 eyaliko omubaka mu palamenti era eyaliko ssentebe wa Uganda Muslim supreme council, nga yeyazimbye masjid eno wakati mukujjukira taata we kulw’ebyo byeyakolera obusiramu.

Sheik Lunanoba avumiridde ebitongole ebimu ebimala gazimba emizikiti nga Jiriraniganye nga negimu tegirina bajisaaliramu olw’obutetegereza nakwekeneenya watufu walina kuzimbibwa mizikiti. Asabye buli alina kyakola okukikola kulwa Allah kubanga yeyekka asasula empeera.

Alhajji Dr. Abdul Karimu Kaliisa ssenkulu Wa salam Tv ne Salam Charity Foundation era omu kuba Director ba Pearl Fm asiimye emirimu ejikoleddwa Hajji Serunjogi ejikulakulanya obusiramu. Asabye buli omu okufuna kyayigira kumpangaala ya Hajji ono nga akuze mwetowaze ate nga Mugabi.

Yye Alhajji Hon Ali Sserunjogi akubiriza abavubuka okubeera N’amaziima,abesigwa,abawulize eri bakama babwe era abagumikiriza mubuli kimu okusobola okutuuka kubuwanguzi. Asabye abalina obusobozi okwelekereza bakole emirimu gya Allah.

Omukolo guno gwetabiddwako abebitiibwa bangi omubadde Dr Ibrahim Matovu owa Mbogo schools, sheik Yusuf Sonko,Hajji Kasim Kayiira munamawulire wa BBC, SSP Matovu Kassim okuva Ku Cps,Sheik Swalehe Kigunddu Munabugerere,sheik Abdallah Bakasambe, sheik Juma Mutagayika Sheik Ismail Mayambala nabalala bangi.

Bya Ismail Tenywa Kabangala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *