Politics

Mathias Mpuuga akangudde ku doboozi eri banne.

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga Nsamba akangudde ku doboozi olw’ababaka baakulembera abasusse okwebulankanya mu ntuula za Palamenti kko n’obukiiko bwa Palamenti kyagamba nti byebimu ku binafuya ebiruubirirwa byebalina nga abavuganya ekiwa omwaganya aba NRM okwegazaanya olwo bbo nebalabika nga emperekeze .

Bino Mpuuga abyogedde bwabadde aggalawo olusirika lwe bibiina ebiri ku ludda oluwabula gavumenti olumaze ennaku 3 nga luyindira e munyonyo ku resort Hotel ne kigendererwa eky’okusalao entotto ku nnongosereza mu mateeka agafuga ebyokulonda wamu ne ssemateeka.

Mpuuga agamba okwebulankanya kw’ababaka mu Palamenti balanzi beebayinza okukinogera eddagala nga mu kino abalonzi abasabye obutasirika bakake abantu Bano okujja okubateeseza.

Mpuuga era alaze obwennyamivu ku bantu baakulembera abatali ku mulamwa nga bbo abavuganya abatuuse n’okwemulugunya mu lusirika luno lwebabaddemu nga tebawadde nsonga ya Ssimba.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *