Politics

Besigye awadde banne abavuganya gavumenti amagezi.

Eyaliko president general w’ekibiina kya FDC Rtd Col Dr.kiiza Besigye awabudde abakulembeze bebibiina by’obufuzi ku ludda oluwabula gavumenti okukomya okulumagana wabula bakolere kimu nkyukakyuka nga bayita mu kukyusa obuyinza.

Besigye agamba nti bano gye bakomya okwevuganya nokwelumaaluma bbo kennyini beenafuya mu maaso ga bantu nekiwa ekibiina kya NRM omukisa okusigala mu buyinza.

Bino byonna Besigye abyogeredde mu lusirika lwa b’oludda oluwabula gavumenti olwagendereddwamu okusala entotto zokukola ennongosereza mu mateeka agafuga ebyokulonda wamu ne semateeka olubadde emunyonyo.

Agambye nti oludda oluwabula gavumenti lukyali mu busibe ku banga tebasobola kwegazanyiza mu ddembe lyabwe eryebyobufuzi nga bweguli ku banna NRM wasinzidde okukuutira bano okukomya okwerwanyisa badde ku mulamwa.

Besigye agasseeko nti engeri yokka bannayuganda gye basobola okuva mu busibe buno kwe kukola enkyukakyuka mu mateeka ezinaazuukiza ebitongole bya gavumenti nga akakiiko ke byokulonda, palamenti wamu ne bitongole ebirala ebizinira ku ntoli za nakyemalira.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *