Education

Minisita Kasaijja bamutadde ku nninga.

18/4/23.

Abakaba ku kakiiko ka Palamenti akavunyizibwa eby’enjigiriza n’emizanyo aka Education and Sports Committee batadde Minister w’ebyensimbi Matia Kasijja ku nninga okweyanjula mu kakiiko Kano okunyonyola ekiviraako okusala ensimbi eziwebwaayo eri eby’enjigiriza ekigotaanyizza emirimu

Sabiti ewedde Ssentebe wa kakiiko Kano era omubaka wa Bunyaruguru county Ntamuhiirwa John Twesige yalagira abakulu okuva mu Ministry ye byensimbi okulabikako mu kakiiko oku tangaza kumwemulugunya okwakolebwa amatendekero ga Gavumenti olwobutaweebwa ensimbi zimala okuduukanya university zino

Abakungu okuva mu Ministry ye Education nga bakulembedwamu minister avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu owekitibwa JC Muyingo baze mu kakiiko enkya yalero , wabula ababaka balemye nti sibakuteesa kunsonga yonna ekwata ku byenjigiriza okujako nga Minister Matia Kasaija , Henry Musasizi Minister omubeezi ow’ebyensimbi nokutekeratekera eggwanga Saako omutesisitesi omukulu mu ministry ye byensimbi Radan Goobi kubono nga kwabo kutegeddwa okubeerako Ali mu kakiiko kubanga bebavunanyizibwa kunsimbi .

Abakaba okubadde owa Kalungu west Joseph Sewungu Gonzaga ne Geodfrey Marcho owa Busia Municipality bakalambidde nti sibakukiriza kiyulisibwamu maaso.

Ssentebe wa kakiiko oluvanyuma ayimirizza okubaganya ebirowoozo okumala edakiika asaatu(30 ) okuwa omwaganya wakili omu kuba Minister bano okweyanjula kukakiiko .

Wabula kitegerekeese nti Tewali minister yenna abadewo okujja onyonyola akakiiko lwaki ensimbi eziwebwa eby’enjigiriza zikekyulwa ekyenkanide awo

Kino Kijje ababaka mumbeera nebasaba Sentebbe wakakiiko Ntamuhiirwa John Twesige ayimirizza mbagilawo Entekateka zonno bwatyo asizza kimu nababaka nalagila Minister JC Muyingo nabukungu okudda mu kakiiko Kano olunaku lwenkya

Ntamuhiirwa John Twesige ategezeza nti bamaze sabiti namba nga basisinkane abakulira amatendekero egyenjawulo negalombojera akakiiko Kano ennaku gyegayitamu olw’o butabeera nansimbi wabula kibabuseeko okulaba nga abakulu okuva mu Ministry ye Yebuzabuza.

Wiki ewedde abakulira University za Gavumenti okwali Mbalara university of science and Technology, Lira university, Gulu University basinzila mu kakiiko Kano nebategeza nti baweebwa ensimbi nto , nga tebayina bizimbe bimala nga abayizi basomera mu Tent, nga Gavumenti ewa university abayizi kyokka nga tebwa nsimbi zakubalabirira.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *