Politics

Temutya aba ADF tubagonzezza-Minisita Ssempijja

Minisita w’oby’okwerinda Vincent Bamulangaki Ssempijja agumizza banna Uganda nti tebasaanidde kutya olw’obulumbaganyi obukolebwa abayekera ba ADF kubanga webatuuse kati beekwata ku bisubi.

Minisita Ssempijja akakasizza nti nga ojeeko obulumbaganyi obwakoleddwa ku balambuzi abagwiira babiri nebattibwa ne munna Uganda omu eyabadde abalambuza mu Kuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabneth National Park sabiiti eno kitono nnyo kw’ebyo abayekera byebabadde bapanga.

Minisita agamba nti aba ADF bazze baluka emipango miyitirivu okutta abantu nga batega bbomu naye amagye ga Uganda nga gali wamu n’ebitongole ebikessi bazze balinnya eggere mu nteekateeka zino.

Minisita ayongeddeko nti wadde nga amagye ga Uganda gakola butaweera okulwanyisa abayekera ba ADF, kisanidde okutegerekeka nti bano balina emirandira egiwerako mu Uganda ne Congo naye kino tekibatiisa.

Minisita Ssempijja era asaasidde nnyo ab’oluganda lw’abantu abaafiriddwako ababwe mu bulumbaganyi buno.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *