Politics

Omubaka Zaake talabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa

Ensonga z’omubaka Zaake zitandikidde mu bukodyo oluvanyuma lw’omuwawabirwa nga ye mubaka Francis Zaake obutalabikako mu kakiiko akakwasissa empisa mu lukiiko lweggwanga olukulu .

Okusinziira ku muwandiisi w’akakiiko kano omubaka Zaake baamutegeeza sabiiti eyise nga bweyeetagibwa mu kakiiko wabula nabategeeza nga bwataliiwo era nabasuubiza okubategeeza nga bwagenda okukomawo mu bwangu ddala wabula nejebuli Kati tebanafuna kuddibwamu.

Kino kiwalirizza ssentebe wakakiiko kano Abudl Katuntu okulagira omuwandiisi w’akakiiko kano okuwandiikira omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu oba ng’amannyi ddi omubaka ono lw’anakomawo awamu nakulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Ku nsonga yeemu .

Wabula okubulawo kwa Zaake tekulemesezza kakiiko kuwuliriza nakukwata bujulizi buleeteddwa bantu balala , nga kuno kubaddeko abavunaanyizibwa ku kukwata ebifananyi awamu n’ebyogerwa mu palamenti nga babadde bakulembeddwamu Moses Bwalatumu era nga bano bawaddeyo akatambi akalaga ebyaliwo mu lutuula olwo awamu nebiwandiiko ebiraga ebigambo ebyayogerwa mu lutuula lwe lumu. mubujulizi obuleeteddwa bano balaze ebifananyi ebyaliwo akadde ako naye nga kamera zassa nnyo obudde Ku mukubiriza w’olukiiko eyaliwo akadde ako awamu n’entebbe ye nga ebirala tebabisaako mulaka , nga wano Bwalatum ategeezezza nga amateeka bwegabalagira nti bwewabaawo akavuyo konna amaaso oba Kamera bateekeddwa kugassa Ku sipiika aba muntebe akadde ako .

Awamu nakulira poliisi ya palamenti Steven Agaba naye akuliddemu abasirikale abaleese ebifaananyi ebyakwatibwa kamera ezokubisenge ziyite “CCTV camera “.
wabula nga bano entambi zebaleese tekubadde maloboozi nakyo ekibobezza ababaka emitwe .

Bonna abalabiseeko babajjukiza nti omubaka Zzaake bwanakomawo baakubayita okuddamu ebibuuzo ssinga anaaba abirina ku bujulizi bwebaleese.

Akakiiko kakkiriziganyizza okuwandiikira sipiika era kaddemu okutuula omwaka ogugya okumaliriza ensonga eno.

Ssentebe wakakiiko ajjukiza abamawulire nti buli kimu bakirabye nga bwekibadde kitambula era nga tewaliwo nsonga yakubuuliza mu nkuubo za Palamenti ekibuuzo kyonna kubibadde bigenda mu maaso era nga baakugoberera buli kimu nga bwekitambula okuva ku ntandikwa okutuusa Ku nkomerero baakubeera mu kakiiko .

Katuntu era alagidde omuwandiisi wa kakiiko okuweereza omubaka Zaake buli kimu ekibaddewo olunnaku olwa leero omuli n’obujuluzi bw’obutambi obuleeteddwa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *