Politics

Ababaka bekokkodde enyambala ya bayimbi ensangi zino n’empisa eziserebye.

Ababaka mu palamenti basabye minisitule y’ebyobuwangwa n’okukwasisa empisa wamu ne y’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga okuvaayo nebiragiro ku nyambala eno basobole okutaasa emigigi emito

Bino byogeddwa James Nsaba Buturo (MP/Bufumbira) eyaliko minisita we by’empisa mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku palamenti.

Okwogera bino kiddiridde omuyimbi Sheeba Kalungi ne Cindy Ssanyu okwolesa ennyambala gyebayise eyesitazza mu kivvulu kye bategese ku lwomukaaga bwe bannyonnyodde nti teyayoleseza kitiibwa kya buwangwa bwa ggwanga lyattu.

Nsaba Buturo yagambye nti kiswaza okulaba nti abayimbi b’omulembe guno bayita bwerere ate abamu ne baguyita omusono nga berabidde nti eyo si yennyambala ya wano

Ategeezeza nti newankubadde bayimba, tebalina mukululo gwa manyi gwe bagenda kuleka ogusinga ogwa basajja nga Lucky Dube ne Jimmy Katumba

Rev. Fr. Charles Onen (Pece-Laroo Gulu City) alaze nti abayimbi mu ggwanga lya Singapore ne South Africa bakozesa amaloboozi gabwe okutumbula eby’empisa ekitali wano navumirira abayimbi bawano okuteeka obutitimbe bwe nsimbi mu bintu by’obuseegu okusinga okulwanirira empisa.

Balaze nti singa gavumenti yefuula kyesirikidde mu nsonga eno, obutabanguko mu ggwanga bwa kweyongera

Bano era bagenze mu maaso nebalaga obutali bumativu eri minisitule ye by‘obulimi nga bagyiranga kwekkiriranga n’amawanga ga bazungu okuguza nga abalimi bawano ensigo z’ebirime engirire ze bagamba nti ze zivuddeko endwadde nga kookolo okweyongera nebyamaguzi bya wano okugaanibwa mu mawanga amalala era nebasaba gavumenti okuwera ensigo ezo

Ensigo ezogerwako mulimu Kasooli, ebijanjaalo, entungo ne ndala.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *