Islamic

One Ummah Uganda egabudde bana wakiso ente 75 n’embuzi 50.

Ekitongole kya one Ummah Uganda wamu ne banywanyi bakyo aba one Ummah UK bagabudde banna Wakiso n’ettu lya Eid Al Aduha bwebabasalidde ente 75 wamu n’embuzi ezisoba mu 50.

Omukolo guno gukoleddwa kusomero lya Madinatul Munawara Islamic schools e’Mende Wakiso.

Enyama eno esaliddwa eweereddwa abakadde,banamwandu,abaliko obulemu,bamulekwa,ba Sheik,ba Imam nabaziinyi ,abaana abato nabalala bangi.

Akulira One Ummah mu Uganda Hajjat Shania Kigozi agambye nti omulimu guno ogw’okugabira abantu enyama bagukola buli mwaka n’ekigendererwa ky’okuyambako abetaavu okufuna enva zebalya ku Eid n’oluvanyuma lwa Eid kunnaku esatu ezigoberera olunaku lwa Eid.

Hajjat Shania kigozi akubiriza abawebwa obuvanyizibwa bw’okugabira abantu ebintu okubeera abeluufu mu mirimu gyabwe ekigendererwa kyababa bawaddeyo kisobole okutuukirira obulungi.

Abantu abasoba mu 1000 bebawereddwa enyama eno nga buli omu awereddwa kiro ttano (5).

District kadhi wa wakiso Sheik Elias Kigozi Nkangi era ssenkulu wa Umoja Helping Hearts Uganda asabye bana wakiso bano okuwagira ebintu ebiba bitandikiddwawo abaana enzaalwa omuli amasomero n’enkulakulana eba ezze mu bitundu.

Asabye abasiramu okwejjamu enkwe nobuteyagaliza kubanga byebizingamiza enkulakulana. Sheik Kigozi agambye nti nabo nga aba umoja helping hearts Uganda basobola okugabula abantu bano n’ente ezisoba mu 50 wamu n’embuzi. Abatuuze be Wakiso basiimye nnyo ekitongole ekya Umoja Helping Hearts Uganda wamu ne One Ummah olw’okubalowozangako buli kisera nebasaba Allah okusitula ebitongole bino.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *