Politics

Palamenti esazeewo ensonga za minisita Persis Namuganza ziggwe omwezi guno.

Kino kizze oluvanyuma lwa palamenti okusaawo akakiiko okutandika okuwuliriza ensonga zonna omuli n’omuvunaanwa nga ye minisita awamu nabawaabi.

Olukiiko lw’eggwanga olukulu lubadde mu luwummula nga luzeemu enkya ya leero era ezimu ku nsonga ezibadde mu lukangagga lw’ebyo eby’okutesebwaako ensonga ya minisita tebadeeko wabula mu kwogera kw’omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu ensonga eno mwejidde .

Akakiiko kateereddwaako ababaka mukaaga nga kaakukulirwa omubaka Mwine Mpaka Rwamirama, abalala kuliko Niwagaba Wilfred, Mpindi Bumaali, Bakabuulindi Charles , Naluyima Betty Ethel , Ekanya Geofrey ne Nancy Achola .

Mukusoma amannya g’ababaka Tayebwa ategeezezza nga bweyewaze okulonda ababaka abaali bakubaganyizaako ebirowoozo ku nsonga eno ng’ayagala buli omu afune obwenkanya era waleme ku baawo kyakwekwaasa .
Akakiiko Kano kalina ennaku 15 okuba nga kamaliriza alipoota eno era nga zigwaako nga 23 omwezi guno ogwa ‘january’ .

Kinnajukirwa nti nga 23 omwezi oguwedde omubaka Okoth Amos yayanja ekiteeso eky’okujja obwesige mu minisita Persis Namuganza era nga yalina emikono ejaali jetaagisa .

Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa ategezezza nga ku lunnaku olwo lwennyini lweyawandikira pulezidenti namutegeeza ku kiteeso eky’okujja obwesige mu minisita we era nti okuva olwo ennaku ziyiseewo kkumi nataano era nti pulezidenti tateekeddwa kumuddamu okugenda mu maaso n’ekiteeso kino, era nti buli kimu kirambikiddwa mu mateeka.

Wabula nampala wa gavumenti Hamson Obua yemulugunyizza ku kya sipiika okuteeka ababaka baakulira ku bukiiko obwenjawulo nga tamwebuzizaako.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *