Politics

Abafumbo mukulembeze Allah-Dr. Hafiz Bukenya

District kadhi wa Kayunga Bugerere Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya asabye abafumbo bulijjo okugumikiriza,okutya Allah wamu nokubeera n’amazima obufumbo busobole okubatambulira obulungi.

Hafiz Bukenya okwogera bino asinzidde kumukolo gw’okufumbiza Salimah Bint Hussein muwala wa Hussein Baligeya nga ono awoweddwa nemwana munne Hydary Muganzi Buyondo awangaalira e Bungereza nga mutaabani wa Hajji Muhammad Muganzi Buyondo. Bano bagatiddwa mumaka ga Dr. Hafiz Bukenya e Kawuku Bukasa kuluguudo lw’enttebe.

Hafiz Bukenya anyonyodde nti ebbanga abafumbo lyebamala nga tebakulembeza Allah wabwe munsonga zabwe babeera mukufafaganirwa. Sheik Bukenya ono asibilidde entanda omugole Salimah nga ono muwala wamwanyina entanda okubeera omuwulize eri bba wamu nokuwangana ekitiibwa.

Omukolo guno gwetabiddwako abebitiibwa bangi Omuli eyaliko district kadhi we Kayunga eyawummula Sheik Haruna Matovu nga ono ye asabye abazadde okukuza abaana n’empisa wamu nokubagazisa ediini yabwe.

Ate ye Omukulu w’ettwale lya Makindye sabagabo era ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo by’ediini ekya Islamic Primary Leaving examinations Board Sheik Ismail Kazibwe Kitiibwa asiimye nnyo abafumbiriganiddwa bano olwokukola ng’amateeka g’obusiramu bwegalagira navumirira abo bonna abenyigira mubikolwa by’omukwano ogw’ebikukujju nagamba nti tekirizibwa mubusiramu era byebimu kubiretedde embeera y’ebyenfuna okwononeka.

Bya Tenywa Ismail.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *