Politics

Palamenti ewulidde okulajana kw’aba Boda boda kubya Permit.

Palamenti eragidde ministry evunanyizibwa kuby’entambula wamu ne’mirimu etandiike okulowooza kukukendeeza ku muwendo gw’ensimbi aba bodaboda gw’ebalina okusasula okufuna ekiwandiiko ekibakirizza okuvuga boda oba kiyitte driving permit.

Kino kidiridde omubaka akiikirira abantu be Kimanya Kabonera Dr. Abedi Bwanika okutegeeza palamenti nga abavuzi ba boda boda bwebabinikibwa omusimbi omunji okusobola okuweebwa permits ekintu kyagambye nti kisaana kitunulwemu kuba abamu tebazisobola nga Kati basigaliza kudduka misinde nga balabye aba traffic ate ekilinza okuvilalo obubenjje.

Bwanika era assabye parliament esooke eragire ministry ye byentambula esooke ewumuzeemu okukwatta abavuzi ba bodaboda olw’obutaba na driving permit okumala emyezi wakiri mukaaga kiwe akabanga buli muvuzi wa boda okugifuna

Ye minister omubeezi ow’ebyentyambula ne mirimu Musa Ecweru ategeezezza parliament nti tebasobola kukirizza kuyimiriza mu kukwata ba bodaboda abatalina driving permit okumala emyezi egyo omukaaga nti kuba boda boda zezisinga okukola obubenjje mu kampala ne muggwanga lyonna

Minister Ecweru era ategeezezza nti banabyabufuzi baleme kukozesa nsonga ya bodaboda okuzannya ebyobufuzi byabwe wamu nokugula obuganzi eri abantu.

Wabula ye omumyuka w’omukubiriza wolukiiko lw’egwanga olukulu Thomas Tayebwa ategeezezza minister nti mu bintu byonna omubaka byayogedde yandibadde alondamu eky’ensonga nga ekyokukendeeza ku sente za permit nti kuba bwebatakikole aba boda boda bagenda kuba badduka buddusi baleme kufuna driving permit ezo era bwatyo namulagira alette alipota ekwatta kunsonga eyo ku lwokubiri lwa sabiti ejja.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *