Politics

Zente zabazungu eziriko obukwakulizo muzireke, Sipiika alabudde ab’ebibiina by’obwanakyewa

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Annet Anita Among alabudde ebibiina by’obwanakyewa okulekerawo okukirizza sente zobuyambi ez’abazungu eziriko obukwakulizo obusukkiridde nti kuba zibavirako okukola ebintu ebitatana obuwangwa ne nono za Uganda.

Okulabula kuno sipiika Among akukoze asisikanyemu abakulira ebibiina byobwanakyewa ebyenjawulo mu Uganda abegatiira mu mukago gwabwe ogwa Uganda National NGO forum nabategeeza nti okusinga okukirizza sente eziriko obukwakulizo obuswaaza enono n’obuwangwa bwa uganda bandibadde baddukira mu government nebawa sente ezokukola emirimu gyabwe nti kuba sente zonna zebetaaga government eno ezirina.

Anita Among era awanjjagidde abakulira ebibiina by’obwanakyewa bino nti bulijjo bwebaba bakola emirimu gyabwe mu ggwanga essira basinge kuliteeka kukuwereza abantu nga batukirizza ebyetaago byabwe era nabasaba okwewala okuyingizza eby’obufuzi mu buwereza bwabwe.

Mukwanukula ssenkulu w’omukago ogutaba ebibiina by’obwanakyewa mu ggwanga ogwa Uganda national NGO forum Moses Isooba ategeezezza nga bwebagenda okufuba okulaba nga ebibiina by’obwanakyewa byewala okufuna esimbi okuva mubagabirizi bobuyambi nga ziriko okukwakulizo obutyobola enono nobuwangwa bwa Uganda.

Moses Isooba era ategeezezza nga bwebagenda okutwala ensonga eyobuteyingizza mu byabufuzi nga bakola emirimu gyabwe nga ekintu ekikulu enyo era nasubizza nti bagenda kufuba nyo okulaba nga ebibiina byobwanakyewa byonna mu Uganda bikola emirmu emituufu egyabitandisibwawo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *