Politics

Palamenti teyambira ku mitimbagano. Tayebwa awabudde Ssegirinya

Amyuuka Sipiika wa Palameti Thomas Tayebwa alabudde ababaka ba Palamenti abaddukira ku mitimbagano omuli Tik Tok n’emirala nga balajana nti Palamenti tebayambye kufuna nsimbi za bujanjabi.

Hon. Tayebwa agambye nti ebintu bya Palamenti bya mitendera nga omulwadde atekeddwa okuwandikira akakiiko k’ebyobujanjabi aka Uganda Medical Board, omusawo nakakasa nti kituufu obulwadde tebusobola kujanjabibwa kuno, olwo Palamenti neryoka efulumya ensimbi ez’obujanjabi ezetagibwa.

Amyuuka Sipiika okwogera bino kidiridde Omubaka wa Kawempe North Muhammad Sseggirinya okuddukira ku Social media nalumiriza Palamenti nti temuyambye kumujanjaba era gyaali e Netherlands abatwala eddwaliro erya Amsterdam University Medical Centre baamulagidde nti bwasuuka agenda kwooza amasuuka g’eddwaliro ng’asasulira obujanjabi obumuwereddwa.

Hon Tayebwa era akikattiriza nti Hon. Ssegirinya teyategeeza Palamenti ng’asimbula okugenda ebweru okufuna obujanjabi.

Hon Sseggirinya atawanyizibwa Kkookolo w’olususu, obulwadde bw’ensigo, n’amawuggwe.

Oluvanyuma akulira oludda oluvuganya Mathias Nsamba Mpuuga akakasizza nga bwayogeddeko ne Hon. Sseggirinya era nakkiriza nti yakola ensobi obutayita mu mitendera mituufu nga tanagenda bweru naye ensonga enkulu mu kiseera kino, kwekumufunira ensimbi z’obujanjabi.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *