Politics

Teri kuddamu kulima, kukozesa njaga wadde amayirungi-Palamenti.

Palamenti eyisizza eteeka lya Narcotic Drugs and Psychortropic Substance (Controll ) bill 2023 erikugira abalimi b’ebiragalala okuddamu okubirima nga tebasoose kufuna lukusa okuva mu minisitule y’ebyobulamu neteekawo ebibonerezo ebikakali eri abanakola emputtu

Olukiiko lw’eggwanga olukulu mu kuyisa etteeka lino, lusazeewo nti omuntu okubirima alina okusooka okufuna olukusa okuva mu minisitule eno n’ekitongole kya National Drug Authority (NDA ) nga anawalaza empaka nabirima nga talina layisinsi ajakuba azizza omusango.

Ebiragalalagala ebyogerwako y’enjaga n’amayirungi nga nannyini ttaka anakkiriza birimwe ku ttaka lye, aneenyigira mu kubikukusa n’omulimi yenna aneenyigira mu kubirima ku mpaka awatali lukusa wakutanzibwa akawumbi k’ensimbi oba okuwa engassi ekubisiddwamu emirundi essatu okusinziira ku beeyi ekirime ekyo kwekinaba oba okusibwa emyaka 5.

Ate eri abasawo abakugu abatunda eddagala mu famase abanakwatibwa nga baguzza abantu eddagala eririmu ebiralagalalagala palamenti esazeewo nabo batanzibwe engasi ya akawumbi kamu oba okusibibwa okumala ebbanga lya myaka 10 si nakindi okuweebwa ebibonerezo byombi.

Palamenti tekomye awo era esazeewo nti omuntu anasangibwa nga afuuwa , anuusa , awunyiriza ,agaaya oba mu ngeri yonna nga akozesa ebiragalagala wakusibwa emyaka 10 oba atanzibwe akakadde k’ensimbi.

Ebibonerezo bino bye bimu era ebiteereddwawo eri bananyini bizimbe oba omuntu yenna avunanyizibwa kuddukanya ekizimbe anakiriza abantu okunywera enjaga n’amayirungi mu kizimbe kye anuusa , kugiwunyiriza ,oba okugaayirawo ebiragalagala eby’ekika byonna.

Omulundi gwa palamenti ogwokubiri bweyali yekeneenya ebbago lino erifuuse eteeka yali yakkirizza amayirungi galimwe nga mukaseera ako essira baali balitadde mu kuwera njaga eyali eviiriddeko omuwendo gwaabalwadde okweyongera e Butabika nga Dr. Juliet Nakku akulira eddwaliro eryo bweyannyonnyola akakiiko k’ebyokwerinda akakwasibwa eddimu okukola okunoonyereza okwenjawulo.

Wabula bweribadde terinayisibwa Omubaka wa Jinja South division Dr. Timothy Batuwa, awakannyizza ekikolwa ekyokugaana amayirungi okulimwa nabawa ensonga eziwerako omuli okuwa amaanyi baddereva b’ebidduka abavuga ebimotoka ebinene engeendo empavu ne ndala era nasaba gakirizibwe wabula gateekebweko ekkomo ku balina okugalima n’abagatunda

Ababaka abamu nga Santa Sandra Alum Ogwang owa Oyam disitulikiti, Asuman Basalirwa ( Bugiri munisipali) Roland Ndyomugyenyi ( Rukiga District)

n’abalala newankubadde basoose nebawakanya okusaba kwa Batuwa oluvanyuma lwokunnyonnyola palamenti nti amayirungi gawerebwe kubanga gaviiriddeko abantu bangi okufuna obuzibu ku mitwe nebakomekkereza nga batwaliddwa e Butabika saako nokuviirako obumu ku bubenje obuzze bugwawo, eteeka limazze neriyisibwa naye nebakkiriziganya ku kye kkomo ku balina okugalima byebalina okugoberera

Thomas Tayebwa amyuuka sipiika wa palamenti mu kukubiriza olukiiko, akakasiza ebiragalalagala bwebiri eby’obulabe era nakubiriza abazadde okubuulirira abaana ku kabi akabirimu wamu nokukuutira ababaka okwongera okusomesa abantu be bakiikirira okwewala okubikozesa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *