Politics

Salam Charity yakuzimbira abe Mukono omuzikiti gagadde.

Omubaka wa pulezidenti mu District y’eMukono Hajjat Fatuma Ndisaba Nabitaka asiimye ekitongole kya Salam Charity olw’emirimu gyekikolera banna Uganda naddala mu kwekulaakulanya nokutuuka kumuntu wabulijjo.

Bwabadde atema evvuunike ery’okuzimba omuzikiti gaggadde mu kitundu ky’eLwannyonyi mu District y’eMukono, RDC Fatuma ategeezezza nti amaze ebbanga ng’agoberera byonna ebikolebwa Salam Charity naye akizudde nti ddala abatandisi wamu n’abakulembera Ekitongole kino, balina omutima omudduukirize.

Hajjat Fatuma ategeezezza nti mukuyamba abeetaavu wamu n’okukola zi pulojekiti ezenjawulo omuli okuzimba emizikiti, Amalwaliro wamu n’amasomero, Salam Charity eragira ddala nti bino byonna bikolebwa kuyamba muntu wa bulijjo.

Ku mukolo gwegumu guno, Managing Director wa Salam Charity wamu ne Salam Tv, Alhajji Dr. Karim Kaliisa asiimye abo bonna abakwatizaako Ekitongole kino ky’akulembera mu kutuukiriza ebigendererwa byakyo ebyokutumbula embeera z’abantu wamu n’enkulaakulana mu bitundu ebitali bimu. Alhajji Abdul Karim Kaliisa awerekeddwako country Director wa Salam Charity Uganda Alhajji Abdul Salam Ali Kinobe.

Omuzikiti guno ogutandise okuzimbibwa olwa Leero guweza obugazi bwa Square Meters 130 nga guzimbibwa ku ttaka eryaweebwayo Omulamuzi Yasin. Ekifo kino kyakuberako center etendeka abantu ebyemikono wamu ne Library y’obusiramu omunasangibwa ebitabo by’obusiramu ebyenjawulo ne Quran.

Bya Ismail Tenywa Kabangala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *