Politics

Muwanga Kivumbi atabukidde abakimuteekako mbu yajeemedde mukamaawe.

Omubaka w’eButambala Muhammad Muwanga atadde akaka eri abamuguddeko olutalo olw’obutakiika mu lukiiko olwayitiddwa pulezidenti w’ekibiina kyaabwe ekya NUP ku Lwokubiri era nategeeza abakatandika okulwanirira enkyukakyuka mu by’obufuzi okukomya okulinyirira be basangawo mu lutalo kubanga tekikkirizibwa.

Abamutaddeko akanyaaga olw’obutakiika mu lukiiko yagambye basaanye okukimanya nti si buli lukiiko lwa kibiina nti ateekeddwa okulubeeramu kubanga alina bingi byakola ate nga yabadde n’ensonga eyesimba eyamulemesezza.

Okutabuka, kyaddiridde bannayuganda okuyita ku mikututu migatta bantu n’abalala okumukubira amasimu nga bamunenya obutalabikako mu lukiiko kyeyalabye ng’akamanyiiro.

Ng’asinziira ku palamenti , mubukambwe obw’ekitalo bano yabalagidde okumuggyako akajanja kubanga tebbamanyi muwendo gwa nkiiko zaze ajumbira nga ziyitiddwa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Era n’abikula ekyama nti abamuyisizaamu olugayu ekibatta balulunkanira kifo kya bubaka mu palamenti wabula yabategeezezza babeere baguminkiriza kubanga abamu ku bo tebagenda kufiira ku kifo ky’obubaka.

Kivumbi atuuse n’okutegeeza nti alina emyaka 50, mu palamenti amazeemu emyaka 12 wabula nga ekisanja kye ekyasooka yagira ku kaadi ya DP nga nebwebatamulonda mu 2026 takirinamu buzibu era tekijakumutta.

Era agenze maaso nategeeza nga bwali omu ku babaka abakooye palamenti kyokka olw’okuba ali ku kontulakiti eyamuweebwa abalonzi be Butambala talina bwasulawo kifo.

akikaatirizza nti eby’obufuzi si byakukola kufiirawo kubanga asuubirayo obulamu obulala oluvanyuma lw’okuweerezza eggwanga ng’omubaka. N’olwensong’eyo tewali noomu nga asinziira ku byobutabeerawo kwe mulukiiko agwanidde kumubuuza kibuuzo kyonna kubanga akimannyi abantu kika ekyo baagala nnyo ebyonoonese okusinga okuwabula ku nsonga ezibeera ziguddewo mu ggwanga.

Ye omubaka Medard Lubega Sseggona ( Busiro East) agambye nti teyagenderedde butakiika wabula nga bw’ali ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya gavumeti ng’akakiiko babadde baakola dda enteekateeka esisinkana ekitongole kya UNRA nga yabadde talina ngeri yonna ate bwabalekawo bwatyo naasubizza okuyita mu biteeso ebyateeseddwa.

Okusinziira ku nsonda ezesigika okuva mu kibiina kya NUP , ku babaka 59 abakola ekibiina kino, 31 bokka be bagambibwa okuba nga bajumbidde olukiiko, 5 bawaddeyo ebbaluwa ezetonda olw’obutabeerawo ate abalala tebamanyi kyabatuuseeko.

Bya Namagembe Joeria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *