Local

Simeo Nsubuga asunsuddwa kubwa kamisona wakakiiko akarwanirira eddembe ly’obuntu.

Oluvanyuma lwa sentebe wakakiiko akalwanirira edembe ly’obuntu aka Uganda human rights commission Mariam Wangadya okuvayo nga yemulugunya ku mirimu gya kakiiko Kano bwejitambula kasoobo olwa ba commissioner abatono bebalina, Olwa leero akakiiko ka palamenti akasunsula nokuyisa abo ababa balondedwa omukulembezze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni mubifo ebyenjawulo akakulubiziddwa amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa kasunsudde abantu basatu okujuza ebiffo ebyari bibulako.

kubano kuliko Simeo Nsubuga ngono yaliko omwogezi wekitongole Kya police nekyomubaka wa kasanda south ngera Ono ajukilwa nyo okuwagira ekiteeso ekyokujja ekomo kumyaka gyomukulembezze weggwanga giyitte TOGIKWATAKO, Rtd Col Stephen Basaliza ngono yaliko Omubaka wa Bulasha mu paalamenti yomusanvu eranga yaliko member kukakiiko Kano akeddembe lyobuntu, saako ne O’Mara Peter Lamex ngono yaliko commisoner mu ministule yebyenjigiriza nemizanyo.

Oluvanyuma lwokusunsula bano bogeddeko nebanamawulire era buri omu awezze okukolera eggwanga awatari kwetirilira

Simeo Nsubuga agamba olwobumanyirivu bwalina mu polise wakulwanirila eddembe lyobuntu nadala eri abantu abawambibwa awatari musango
O’Mara Appita Lamex ategezeza nga bwagenda okukolera banauganda nomutima gumu era abagumiza obutejusa.

Atte yye Hon Col Stephen Basaliza agamba wakulabanga ateeka ekomyo kubakuuma ddembe abatulugunya banansi.

Basaliza

Bano baalondedwa omukulembezze weggwanga Museveni Kaguta nga ennaku z’omwezi asatu omwezi oguwedde oluvanyuma lwakakiiko Kano akavunanyizibwa kuddembe lyobuntu aka Uganda human rights commission okuvayo enfuda eziwera nga kemulugunya olwobutawera ekiviriddeko emirimu gyabwe okugotaana.


Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *