Politics

Sipiika wa Palamenti Anita Among akungubagidde Cecilia Ogwal.

Omukubiriza w’olukiiko lwe’ggwanga olukulu Annet Anita among akungubagidde Cecilia Barbara Ogwal abadde omubaka omukyala owa Dokolo eyafiiridde mu ggwanga lya Buyindi gy’abadde afunira obujanjjabi.

spiika yasinzidde mu maka g’omugenzi e Bugolobi n’ategeeza nti eggwanga lifiiriddwa omukulembeze atazikawo abadde ayagala eggwanga ne bannayuganda saako omulwanirizi w’eddembe ly’abakyala.

Among yagambye nti okuyingira eby’obufuzi yasikirizibwa omugenzi Ogwal olw’engeri gye yateesangamu mu palamenti.

Ono yamutenderezza nga bw’ababadde omu ku bakulembeze abaludde mu palamenti nga bateeseza Bannayuganda era ng’abadde teyetiirira mu nsonga yonna era ng’ abadde omutabaganya nga bwe wabaawo obutakaanya mu palamenti nasituka okwogera nga buli omu amuwuliriza era ng’alina n’ekifo watuula nga ne bw’aba taliwo tewali mubaka yenna akituulamu olw’ekitiibwa ekibadde kimuweebwa.

Ye kamisona wa palamenti Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti bwe yali nga yakayingira palamenti , omugenzi yakola omulimu gw’amanyi ogw’ okubalungamya ku ngeri bwe balina okwanja ensonga mu lukiiko lw’eggwanga olukulu nga ne w’afiiridde, akakasizza nti omulimu abadde akyagukola naddala eri ababaka ababadde abakayingira palamenti beyayise balugoojamye abatamanyi buvunaanyizibwa bwa bwe.

Mpuuga yamwogeddeko nga abadde mukyala mukozi nnyo omumalirivu assa ekitiibwa mu mulimu ggwe.

Eyaliko akulira oludda oluwabula gavumenti Betty Awoli Ochan nga ono abasinga babadde bamuyita muganda we olwendabiika nekikula omugenzi yamwogeddeko nga abadde omuntu abadde ayagala eggwanga lye wabula ekisinze okubaluma tebamujanjabyeko kubanga babadde tebakimanyiko nti abadde mulwadde.

omugenzi Cecilia Barbra Ogwal abadde mukulembezze wa lulango nga yatandika okuweerezza eggwanga mu 1979 mu kitongole kya Foreign Services, yali omu ku kakiiko akawabuzi ak’okuntikko ak’eby’obusuubuzi, aka Uganda Development Bank ne Housing finance bank

Ono era yali mubalirizi wa bitabo omukuukutivu nga ye nsonga lwaki ebbanga lyonna ly’amaze mu palamenti abadde ku kakiiko ak’ebyembalirira.

Yaliko ssaabawandiisi w’ekibiina kya UPC mu 1985 nga mu 1994 lwe yayingira palamenti era nga yali omu ku abo ababaga ssemateeka.

Mu palamenti ey’omwenda yakirira eggwanga mu lukiiko lwa Pan african palamenti mu S.Africa , yaliko nnamapala w’oludda oluvuganya gavumenti ne kamisona wa palamenti.

Ogwal afiiridde ku myaka egy’obukulu 77 era nga kigambibwa yafudde kirwadde kya kookolo( Kansa).

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *