Politics

Sipiika Anita Among akomezaawo amabaati.

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anitah Annet Among amazze egobe mukibya,bwaguze amabaati agawerera ddala ebikumi bitaano nagakwasa omuyambi we agazzeeyo mu yafeesi ya sabaminisita gasobole okutwalibwa mubawejjere be Karamoja gyegalina okugenda.

Bwabadde aggulawo olutuula lwa Palamenti Sipiika Annet Anita Among ategeezezza ababaka nti ekimutuusiza okugula amabaati gano,yali yagafuna dda ng’era yagawa amasomero ga gavumenti mu bitundu bya Bukedea gyakiikirira wabula oluvanyuma lw’okukizuula nti amabaati gano siyeyali omutuufu okugafuna kwekusalawo agagule agazzeeyo.

Kinajukirwa nti gyebuvudeko sipiika Anita Among yategeza palamenti nti yafuna akasimu okuva mu constituency ye gyakiikirira e’Bukedea nategezebwa nti bafunye amabaati okuva mu yafeesi ya sabaminisita agawerera ddala 500 naye kwekubalagira okugatwala kumasomero ga gavumenti gasereke ebibiina ebiri mumbeera embi.

wano abamu kubabaka ba palamenti okubadde Nampala w’oludda oluwabula gavumenti John Baptist Nambeshe, omubaka wa Busiro East Medard Lubega Sseggona, omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda n’omubaka wa Pian county Remigio Achia basinzidde kubigambo bya Sipiika nebamusiima olwekikolwa kyakoze ngomukulembeze era nebasaba nabakungu ba gavumenti abarala okuli neba minisita okulabira ku Sipiika bazzeeyo amabaati gabawejjere.

Akakiiko ka palament akakola kunsonga z’obwa president akakulemberwa omubaka Jessica Ababiku kakyagendera ddala mumaaso nokukola okunonyereza kwako kumuntu omukyamu eyenyigira mumivuyo gya mabaati agaalina okuwebwa abawejjere mubitundu bye Karamoja.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *