Politics

Speaker Among yegasse ku kakiiko ka Palamenti akakola ku by’embalirira.

Speaker wa palamenti Annet Anita Among awaliriziddwa okwegatta ku kakiiko ka Palamenti akakola ku byembalirira wakati mu kuteekateeka embalirira y’omwaka 2023-24 mu budde.

Kiddiridde akakiiko kano okulemererwa okuleeta alipoota ku mbalirira eno ebadde esuubirwa olwaleero ku ssaawa munaana wabula kino tekisobose Ssentebe wa kakiiko kano Patrick Insiyagi bwategeezezza Palamenti nti tebannamaliriza kukola ku alipoota eno nasaba akakiiko kongerweyo ku budde.

Wabula kino kiggye Speaker mu mbeera bano nabateebereza nti bandiba nga baliko byebakukuta nabyo bwatyo nabasaba okukola omulimu gwabwe nga beetengeredde.

Wano n’ababaka bavudde mu mbeera nga bagamba nti wandibaawo ekikukusibwa speaker nakkaanya nabo era nasalawo okwegatta ku kakiiko k’ebyembalirira alabe ekigenda mu maaso ekimuwalirizza okwongezaayo olutuula lwa Palamenti okutuusa olunaku lwenkya akakiiko lwekanaayanjula alipoota eno..

Ababaka abatuula ku kakiiko kano basambazze ebigambibwa nti wandibaawo okukukuta nga proffessor Elijah Mushemeza bwannyonnyola.

Abalala okuli Owe Ssaza lye Bbaale Charles Tebandeke bawagidde ekya Speaker okwegatta ku Kakiiko ka Budget kubanga kubo kwekutambulira ebyenfuna bye ggwanga tewataaga kukuta kwonna.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *