Sports

Ssempijja Azizi akutte kyamukaaga mu za “THE GREAT RIFT VALLEY CHALLENGE”

Libadde sanyu jerere nga abawagizi b’omuvuzi w’obugaali bw’empaka ssempijja Azizi bamunona okuva mu mpaka za THE GREAT RIFT VALLEY CHALLENGE, ezibadde muggwanga erya Kenya.

sempijja yakutte ekifo Kya 6 mu mpaka zino kyagamba nti ekyamuletedde okkola bwaati kekabenje keyafunye nga ali mu mpaka zino wabula ono agamba nti yadde teyawandudde kumulundi guno siwakugwaamu manyi.
Tuwayizaamu nabamu kubawagizi ba sempijja ababadde bamunonye nebatugamba nti yadde omuntu waabwe teyawandudde wabula kukyeyatuseeko tebasobola kitwala nti kyamuzannyo era bakyamuyinamu esuubi ddene nnyo.

Waliwo nabawagizi bomuzannyo guno abasabye ekibiina ekitwala omuzannyo guno okwongera kubikozesebwa kino kisobole okwanguya kumilimu jabazannyi abagwenyigiramu.

Wabula kinajjukilwa nti jiweze kati emirundi 2 bweddu nga sempijja yetaba mumpaka zino era nga omulundi ogwasooka gwaali gwa mwaka gwa 2019 nga yakwata kifo kya 3.

Bya Ali Ssewanyana

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *